TOP

Minisita Byandala akubye munnamawulire eng'uumi

Added 23rd March 2016

MINISITA Abraham Byandala asabye akkirizibwe okuteese ne kaliisoliiso wa gavumenti mu misango egimuvunaanibwa egy’okwetaba mu mivuyo gy’oluguudo lwa Mukono - Katosi, egyaviirako Gavumenti okufiirwa ssente ezisoba mu buwumbi 24.

          Minisita Byandala ng'aliko omwami gw'ayogera naye ku kkooti  y'abalyake n'abakenuzi e Kololo . EKIF: ALICE NAMUTEBI

Minisita Byandala ng'aliko omwami gw'ayogera naye ku kkooti y'abalyake n'abakenuzi e Kololo . EKIF: ALICE NAMUTEBI

MINISITA Abraham Byandala asabye akkirizibwe okuteese ne kaliisoliiso wa gavumenti  mu misango egimuvunaanibwa egy’okwetaba mu mivuyo gy’oluguudo lwa Mukono - Katosi, egyaviirako Gavumenti okufiirwa ssente ezisoba mu buwumbi 24.

Looya wa Byandala, Ezekiel Nsubuga Mubiru ategeezezza omulamuzi Lawrence Gidudu ku kkooti y’abalyake n’abakenuzi nti Byandala yasazeewo okuteesa ne kaliisoliiso wa gavumenti  mu nkola emanyiddwa nga [Plea Bargaining] emisango egimuvunaanibwa gisobole okuggwa nga tazze mu kkooti kumuwaako bujulizi.

Mu nkola eno singa kaliisoliiso wa gavumenti akkiriza okusaba kwa Byandala kitegeeza nti emisango gyonna egyamuggulwako agikkiriza era abeera aweebwa ekibonerezo ekitono oba okumusasuzza engassi.

Byandala akubye munnamawulire eng'uumi

Byandala olufulumye kkooti ate akkakkanye ku munnamawulire wa Bukedde Ttivvi, Judith Nalugwa n'amukuba ekikonde mu lubuto ng'amulanga kumutunuzaamu kamera ye.

Byandala agguddwaako omusango gw’okukuba munnamawulire ku poliisi ya Jinja Road oguli ku fayiro SD 35/23/03/2016.

Byandala avunaanibwa okukozeesa obubi ofiisi ye ssaako n’okujeemeera ebiragiro bya kaliisoliiso bwe yakkirizza ekitongole ky’enguudo okukola kontulakiti ne kkampuni ey’empewo emanyiddwa nga Etauw mu kukola oluguudo lwa Mukono, Kyetume, Katosi ne Kisoga - Nyenga, ekyaviirako gavumenti okufiirwa ssente ezisoba mu buwumbi obusoba mu 24.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulangira Wasajja, mukyala we Nankya, Kirumira (ayimiridde) n’abalala ku lyato eryabatutte ku Mutima Beach.

Abagagga bazzeeyo ku nnyanj...

ABAGAGGA abaasimattuka akabenje k’eryato lya Mv Templa nga November 24, 2018 (emyaka ebiri emabega) ne mikwano...

Sobi

Sobi ayogedde lwaki alondoo...

ROBERT Kyagulanyi Ssentamu bwe yabadde e Bundibugyo, yalengezza abawagizi be mmotoka ya poliisi n'abagamba: mmotoka...

Nakimbugwe naye yajjuzza.

Ekinyegenyege kya Gabula ki...

ABAAMI ba Kabaka mu Lubaga okuli oweggombolola, abeemiruka n'abatongole beetabye mu kazannyo ka Gabula Ssekukkulu...

Bobi Wine ng'azina mu lukungaana e Bundibugyo.

Amasasi nga Bobi ayingira K...

OLUKUNG'AANA lwa Bobi Wine e Kasese lwabaddemu amasasi ne ttiyaggaasi ng'abaamagye ne poliisi bagumbulula abawagizi...

Omugenzi Muwanga Kakooza

Bakungubagidde Kakooza owa ...

MUNNAMAWULIRE wa Bukedde, Daniel Muwanga Kakooza, aziikiddwa e Ssanga mu ggombolola y'e Gombe ku lw'e Semuto. ...