TOP

Embeera y'amasomero ga Gavt. e Mityana eyungula ezziga!

Added 29th March 2016

Margaret Lutaaya, omukulu w’essomero lya St. Matia Mulumba Primary School erisangibwa e Naama mu divizoni ye Busimbi mu munisipaali ye Mityana bw’alojja ky’ayitamu, sikutedera! Kaabuyonjo y’essomero yagwamu dda, ebizimbe byabambukako amabaati emyaka esatu emabega, bye basomeramu bikutte mu mbinabina era enkuba bw’etonnya abayizi badda waka.

Abayizi ba St. Matia Mulumba Primary School, Naama ku kizimbe kyabwe akyabambuka mu September wa 2013.

Abayizi ba St. Matia Mulumba Primary School, Naama ku kizimbe kyabwe akyabambuka mu September wa 2013.

EMBEERA y’amasomero ga gavumenti aga pulayimale agamu e Mityana eyungula ezzigga.

Margaret Lutaaya, omukulu w’essomero lya St. Matia Mulumba Primary School erisangibwa e Naama mu divizoni ye Busimbi mu munisipaali ye Mityana bw’alojja ky’ayitamu, sikutedera! Kaabuyonjo y’essomero yagwamu dda, ebizimbe byabambukako amabaati emyaka esatu emabega, bye basomeramu bikutte mu mbinabina era enkuba bw’etonnya abayizi badda waka.

“Essomero lyaffe lyatandika mu 1957 era nga lyalimu abayizi abasukka 500, kyokka mu kiseera kino basigaddemu 146 bokka.

Obuzibu obusinze okuddusa abaana, y’embeera y’essomero. Mu April wa 2015, kibuyaga yajja n’abambula akasolya ku bibiina bisatu.

Ebizimbe by'essomero lya St. Matia Mulumba Primary School, Naama eryabambuka mu September wa 2013 n'okutuusa kati tebizibwangako mabaati. Olwabayizi okubulwa we basomera, kireetedde abayizi okudduka mu ssomero, nga mu kiseera kino basigaddemu 147 bokka abaali basukka 400.

Kibuyaga yaddamu n’abambula amabaati ku kibiina kya P6. Okuva olwo tuwandiise amabaluwa batuyambe kuba essomero lya bonnabasome naye tewali buyambi. Mu kiseera kino twasalawo abayizi okubagatta mu bibiina, kyokka nga nabyo embeera gye birimu yeeraliikiriza.

Enkuba bw’etonnya amabaati gasituka mu bbanga era abayizi bonna tubakuηηaanyiza mu kibiina kimu.

Obuzibu obulala bwegattako mu September wa 2013 ennyumba y’abasomesa emu gye tulina ku ssomero bwe yabambuka.

Abazadde b'essomero lya St. Mary's Primary School Kalamba, baasazeewo okwezimbira ekibiina kya P.7 ekyemiti oluvannyuma lw'okulinda gavumenti okubazimbira okumala emyaka . Ebibiina bisatu ku ssomero lino basomera mu miti. Abazadde baakulembeddwamu ssentebe w'olukiiko olufuga essomero, Patrick Kaggwa (ku ddyo).

Okuva olwo tetugizzangawo, okutuusa bwe twafunye obuyambi bwa Mukwenda eyawummula Godfrey Mbalire n’atukwasizaako era kati tuli mu kukomerera.” Ate Joan Namagembe, omukulu w’essomero lya St. Mary’s Kalamba Primary School nalyo erisangibwa mu munisipaali ye Mityana yategeezezza, “essomero lyaffe lya bonnabasome nga lirimu abayizi 305.

Tetulina bibiina bimala ate abalala basomera wansi wa miti. Olusoma lwa ttaamu eno bwe lwali lutandika twagenda okujja ku makya nga kaabuyonjo eguddemu. Mu kiseera kino tulina kaabuyonjo emu ey’obusenge obuna abayizi abawala n’abalenzi gattako n’abasomesa ffenna gye tugabana.” Muky. Namagembe bwe yategeezezza.

Patrick Kaggwa, akulira olukiiko olufuzi olw’essomero lino, yategeezezza nga bwe basazeewo okuzimba ekibiina ekimu nga bakozesa emiti, kuba balinze obuyambi bwa gavumenti nga tebujja.

Kaabuyonjo y'essomero lya St. Mary's Primary School Kalambi yaguddemu, era mu kiseera kino abayizi 305 okuli n'abasomesa bakozesa kaabuyonjo emu, erina obuzigo obuna!

EBIZIBU EBIRALA EBINYIGA AMASOMERO

 Abaana abasinga mu masomero ga UPE tebafuna kyamisana ekibaleetera okusoma obubi.

 Amasomero agamu tegamalaayo birina kusomesebwa bayizi.

 Abakulu b’amasomero tebatuukiriza bulungi mirimu gyabwe.

 Abayizi boosa nnyo mu massomero.

 Abasomesa n’abakulu b’amasomero bangi balinnyayo bbalirirwe.

 Abayizi ba P7 tebafuna bibuuzo bya kubagezesa nga tebannatuula bya kamalirizo.

Ebizimbe by'essomero lya St. Matia Mulumba Primary School, Naama eryabambukako amabaati mu September wa 2013 n'okutuusa kati tegazzibwangako. Olwabayizi okubulwa we basomera, kireetedde abayizi okudduka mu ssomero, nga mu kiseera kino basigaddemu 147 bokka abaali basukka 400.

EBYAVA MU BIGEZO BYA P7 EBYA 2015 BYERALIIKIRIZA

 Ku bayizi 7824, abaatuula P7, abayizi 1291 baagwa ne babulwa ne guleedi mwe babateeka.

 Eggombolola ye Maanyi yatuuza abayizi 388, kyokka abayizi 10 bokka be baayitira mu guleedi esooka.

E Banda baatuuza abayizi 278, bataano bokka be baayitira mu guleedi esooka, e Kakindu ku bayizi 465 abaatuula, mukaaga bokka be baayitira mu guleedi esooka.

N’amagombolola amalala tegaakola bulungi. Masitulah Nambatya, kansala akiikirira divisoni ye Busimbi ku lukiiko lwa disitulikiti yagambye nti ensonga z’amasomero agazze gagwamu kabuyonjo azze azituusa ku be kikwatako naye nga bagamba tewali ssente.

Mukwenda eyawummula, Godfrey Mbalire nga yeetegereza kabuyonjo y'essomero lya St. Matia Mulumba, Naama eyagwamu nga mu kiseera kino abayizi tebakyagikozesa. Ebifaananyi bya Kizito Musoke

 

Ssentebe omulonde owa disitulikiti ya Mityana, Joseph Luzige yagambye nti abantu abakwata ttenda ne bakola emirimu gadibengalye agenda kubakolako.

Yasuubizza n’okulondoola emirimu gya gavumenti gyonna emirala egitatambula bulungi. Luzige yagambye nti abakozi ba gavumenti abawulira nga tebayinza kutuukiriza bulungi mirimu gyabwe, balekulire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...