TOP

Omukazi asse abaana be 2 n'owa Muganda we

Added 6th April 2016

Omukazi asse abaana be 2 n'owa Muganda we

 Tumukunde, eyasse abaana e Bikoni mu Rakai mu katono y'omu ku baana abattiddwa mu ssabo

Tumukunde, eyasse abaana e Bikoni mu Rakai mu katono y'omu ku baana abattiddwa mu ssabo

JJAJJA Wasswa yasoose kwekeja nga bw’abuuza nti: Muzzukulu otuuse? Ng’akabonero k’okulaga amaanyi, yalagidde abaaleese omulwadde bamuleke yeetaaye mu ‘mbuga ya Bajjajja” (essabo) bamukoleko atereere! Wakati ng’okusawula kugenda mu maaso, omulwadde yatabuse n’akuba buli eyabaddewo nga n’Omusamize amutwaliddemu era bwe baabunye emiwabo, omulwadde kwe kukwata akakumbi n’akuba abaana babiri abaabadde bazazikiddwa mu ssabo n’abattirawo.

Omulwadde yatandise mpolampola okutabuka era Jjajja Wasswa n’agumya abaabadde mu ssabo nti, “Jjajja Kiwanukaka atandise okukola” wabula embeera yamuvudde mu ngalo. Yakoowodde emmandwa ne ziremera mu Bizinga era bwe yalabye embeera etegeeza kufiirwa bulamu, ne yeemulula olutalo n’alulekera abakongozzi be ababiri.

Olwo omulwadde Medrine Tumukunde 28, yabadde takyasalikako musale, ng’akuba buli amusala mu maaso. Mu ngeri etakkirizika, Medrine yayuuyizza abakongozzi bombi n’abakanyuga eri.

Omu ku bakongozzi yalemeddeko ng’ayagala asibe omukazi ono emiguwa, wabula omukongozzi olwamugudde mu bulago n’abolooga yatandise kulwana kwesimattula ku mukazi n’afubuttuka nga tatunula na mabega.

Abalwadde abalala abaabaddewo nabo baasaasaanye mu nsiko eriraanye amasabo. Essabo lino eriri e Bikoni mu muluka gw’e Kyanika mu ggombolola y’e Kabira mu Rakai lyabunye omusaayi gw’abaana ababiri; Florence Nankunda ow’emyezi esatu, ne Deogratius Ndyanabo ow’emyezi omwenda.

Medrine y’azaala Nankunda ate Ndyanabo azaalibwa muganda wa Medrine ayitibwa Evaas Korugyendo. Korugyendo ye yakulembeddemu Medrine okumutwala mu ssabo lya Jjajja John Wasswa (abamu bamuyita Hajji) gw’aludde ng’awulira nti mukugu mu kukola ku bantu abafunye ekizibu ku mitwe.

Baavudde ku kyalo Kikondere mu muluka gwe Nakasenyi mu disitulikiti y’e Ssembabule ne boolekera essabo lya Wasswa e Rakai era bombi baagenze n’abaana baabwe ababadde bakyayonka.

ENGERI OMUKAZI GYE YASSE ABAANA MU SSA BO

Korugyendo yattottodde ebyabadde mu ssabo n’engeri Medrine gye yatabuse wakati mu nsaasi n’ennyimba za Balubaale ezaabadde ziyimbibwa. Yannyonnyodde nti: Muganda wange twamututte tali mu mbeera mbi era ffenna twewuunyizza engeri gye yatabuseemu n’afuna amaanyi agakuba abasajja bonna.

Mu kudduka, buli omu yakutte lirye ate Medrine teyakomye awo wabula olutalo yalufulumizza ebweru w’essabo n’atandika okugoba abaabadde bateekateeka okumutaayiza bamukwata. Kigambibwa nti ebweru gye yalonze akakumbi ke yayingidde nako essabo, olwo n’atandika okukakuba abaana ku mitwe. Abaana baakabyeemu gumu, omukka ne gubula ne bassa ogw’enkomerero.

 Wasswa, nnannyini ssabo, gye battidde abaana.

Abakongozzi baakunze abatuuze ku kyalo ne bajjira mu kibinja ne bataayiza Medrine ne bamukwata ne bamusiba ku miguwa, wabula okutuuka ku baana nga baafudde dda. Omusaayi gwabadde gukulukuta okuva mu buli mutwe gwa mwana, okusaasaanira obuliri ne baabadde beebase ku ludda olumu olw’essabo.

Poliisi y’e Kyotera yategeezeddwa era ng’ekulemberwa Apollo Kibuuka yasitukiddemu n’egenda ku masabo n’ekwata Wasswa kyokka abakongozzi beemuludde ne babulawo. Medrine naye yakwatiddwa n’atwalibwa ku poliisi y’e Kyotera gye baamuggye okumutwala e Masaka bamutwale mu basawo b’emitwe bamukebere okuzuula ekyamutuuseeko.

Kibuuka yagambye nti batandise okunoonyereza ku Wasswa okuzuula oba waabaddewo obulagajjavu obwakoleddwa obwavuddeko okufa kw’abaana era bagguddewo fayiro CRB 189/2016. Oluvannyuma baamusindise ku poliisi e Masaka gy’akuumirwa era omwogezi wa poliisi mu ttundutundu ly’e Masaka Iddi Ibin Ssenkumbi yagambye nti oluvannyuma lw’okwekebejja emirambo, baagiwadde abooluganda ne bagitwala okuziikibwa.

Abaana baaziikiddwa e Ssembabule wakati mu miranga n’okwaziirana. Bataata b’abaana ebigambo byabaweddeko era obwedda bali mu mazigaNANNYINI SSA BO BY’ANNYONNYOLA: Wasswa ng’atuusiddwa ku poliisi yeewozezzaako nti: Mmaze emyaka 25 nga nsawula, naye kino tekituukangako mu ssabo lyange! Yayongedde okunnyonnyola nti: Kituufu omukyala abadde mulwadde wange. Baamundeetera ng’atabuse omutwe ne ntandika okumulako, okukwata empewo ezibadde zimutawaanya.

Kyokka we yattidde abaana saabaddewo. Baamubuuzizza gye yabadde alaze n’abategeeza nti yabadde agenze kunoga ddagala; olwo kwe kumubuuza oba eddagala alinoga kiro, n’ayanukula nti gye yabadde alikimye waabadde wala nnyo obudde ne bumuzibirako eyo.

Yagambye nti obulwadde obuluma Medrine bubadde bumumazeeko omwezi mulamba era bamumuleetera nga bamutegeezezza nti alina empewo ezimutawaanya.Dr. Charles Kasozi, eyakolerako e Butabika era nga kati ali Mulago yagambye nti ekizibu kino kiva ku bulwadde obukwata ku bwongo era kimu ku bika by’obulwadde obumanyiddwa ennyo ng’Ensimbu.

Yannyonnyodde nti: Obulwadde bw’Ensimbu bulimu ebika ebiwera era ekimu ku bbyo tekisuula bantu bigwo, wabula kikwata ku bwongo era omulwadde bw’atafuna bujjanjabi butuufu asobola okutabukira ddala omutwe.

Ekika ky’obulwadde kino nga tekinnakula, omuntu asobola okubeera omulamu obulungi n’akola ebintu ebikulowoozesa nti talina mutawaana, kyokka bwe bumutabukira acankalana n’afuuka ng’omulalu era n’akola ebintu ebitakkirizika, ng’okutta abaana be. Dr. Kasozi yagambye nti obulwadde buno butambulira mu musaayi n’awabula abaliyita eddogo nti bakola nsobi kubanga bakyamya abantu ne babaggya mu malwaliro gye bandifunidde eddagala ettuufu, ne babazza mu masabo era abamu bamaliriza bafuniddeyo ebizibu omuli n’okufuukira ddala abalalu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabirah.

Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago...

Bano baabadde ku boodabooda nga batwala omulwadde mu ddwaaliro.

Basonze ku kyasuddeMuseveni...

ABATUUZE mu disitulikiti y'e Mayuge n'abakulembeze boogedde lwaki Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine' owa NUP...

Cranes eyasamba Congo Brazaville e Kumasi .

Cranes lwe yasimattuka okuf...

EMIZANNYO gizze gigwamu ebikangabwa eby'amaanyi ne mufiiramu abazannyi. Ebimu ku bino bwe bubenje bw'ennyonyi okugeza;...

Abazannyi ba Gomba nga basanyikira emu ku ggoolo ezaateebeddwa Charles Bbaale (asitamye ku kkono).

Gomba ne Buddu zifungizza k...

BANNABUDDU n'abava e Gomba essanyu katono libaabye eggulo, ttiimu zaabwe bwe zeesozze semi y'empaka z'omupiira...

Omu ku baana aba P7 ng’afuna ebikozesebwa.

Aba P7 bafunye ebinaabayisa...

ESSOMERO ly'abaana bamulekwa ne bakateeyamba baweereddwa emmere enaabayisa mu kiseera ky'okukola ebibuuzo bya PLE....