TOP

Ababaka ba Palamenti 73 bafeesa lwa bifo

Added 6th April 2016

ABABAKA ba Palamenti kumpi 73 abaakalondebwa boolekedde okufiirwa ebifo byabwe oluvannyuma lwa be baawangudde okubawawaabira mu kkooti nga baagala obuwanguzi bwabwe busazibwemu wabeewo okuddamu okulonda.

 Peter Sematimba (Busiro South) yawawaabiddwa Stephen Sekigozi

Peter Sematimba (Busiro South) yawawaabiddwa Stephen Sekigozi

ABABAKA ba Palamenti kumpi 73 abaakalondebwa boolekedde okufiirwa ebifo byabwe oluvannyuma lwa be baawangudde okubawawaabira mu kkooti nga baagala obuwanguzi bwabwe busazibwemu wabeewo okuddamu okulonda.

Emisango gino giroopeddwa mu Kkooti Enkulu mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo omuli; Kampala, Masaka, Jinja, Mbale, Fort Portal, Mbarara, Kabale, Masindi, Lira, Arua, Gulu ne Soroti.

Abamu ku babaka abaawangudde bawawaabiddwa olw’obutabeera na buyigirize, okujingirira, okugulirira abalonzi n’emivuyo emirala.

Omwogezi w’ekitongole Ekiramuzi, Erias Kisawuzi yategeezezza Bukedde nti we bwazibidde ku Lwokubiri, ng’emisango 73 gye gyakawawaabirwa abamu ku bawangudde obubaka bwa Palamenti.“ Twakafuna emisango 73 ate nga tusuubirwa nti gikyeyongera kubanga abantu bakyassaayo ebiwandiiko mu kkooti mu bitundu eby’enjawulo”, Kisawuzi bwe yategeezezza.

Yategeezezza nti ekitongole Ekiramuzi kitaddewo ekkuhhaanyirizo ly’emisango gino nga baagala bategeere obungi bwagyo basobole okweteekateeka naddala okulonda abalamuzi abalina okugiwulira.

Kisawuzi yagambye nti, etteeka ly’Ebyokulonda liwa kkooti emyezi mukaaga okuwulira n’okusala emisango egy’ebyokulonda n’annyonnyola nti ng’ekitongole Ekiramuzi, beeteefuteefu okuwulira n’okugisala mu myezi omukaaga etteeka lye giragira.

Etteeka era liragira nti omuntu yenna bw’aba tamatidde ne nsala ya Kkooti Enkulu, asobola okweyongerayo mu kkooti ejulirwamu era awo w’akoma.

ENGERI GYE BATAMATIDDE:

1 Emisango egisinga obungi giwawaabiddwa mu kkooti Enkulu e Jinja ng’eno, ababaka 15 bawawaabiddwa olw’emivuyo egy’ebyokulonda n’abamu obutaba na buyigirize.

Kkooti Enkulu e Jinja y’etwala Mukono, Buikwe, Buvuma n’ebitundu bya Busoga.

2 Mu kkooti Enkulu e Masaka, waliyo emisango (9) egitwaliddwa.

3 Mbale, waliyo emisango 12.

4 Mbarara emisango (10).

5 Soroti (6).

6 Masindi (3),

7 Arua (4),

8 Gulu (4),

9 Kabale (3), 10 Kampala (3)11 Fort Portal (4).

ABAMU KU BAWAWAABIDDWA:

Peter Sematimba (Busiro South) awawaabiddwa Stephen Sekigozi Musoke Wakayima (Nansana Munisipaali) awawaabiddwa Kasule Sebunnya.

Isaac Ssozi Mulindwa (Lugazi Munisupaali) avunaanibwa Elizabeth Lugudde - Katwe David Mutebi (Buikwe South) awawaabiddwa Dr. Lulume Bayiga Christopher Kalemba (Kakuuto) awawaabiddwa Drake Lubega Lydia Mirembe (mukazi Butambala) awawaabiddwa Asha Nalule Kabanda Anifa Kawooya (mukazi Sembabule) amututte mu kkooti ye Kafula Kabatsi Theodore Sekikubo (Lwemiyaga) awawaabiddwa Patrick Nkalubo Igeme Nabeta (Jinja - Munisupaali West) avunaanibwa Paul Mwiru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...