TOP

Majambere eyasimattuka amasasi mu nsiko baamubaaze nga mbuzi

Added 12th April 2016

Majambere eyasimattuka amasasi mu nsiko baamubaaze nga mbuzi

 Ssaalongo Babumba Majambere eyafudde.

Ssaalongo Babumba Majambere eyafudde.

PULEZIDENTI Museveni bw'abaddenga aliko olusirika lw'abalwanyi lw'ayise e Kyankwanzi ng'asooka kubuuza musajja we omulwanyi, Ssaalongo Samuel Babumba "Majambere". Mu maka ga Majambere, Museveni gye yasookera alyoke akube enkambi e Kitemamasanga okumpi n'e Ssemuto gye yasinziira okulwanyisa effugabbi.

Ssentebe w'abaazirwanako, Haji Edirisa Seddunga yategeezezza nti olumu, Pulezidenti yayita olukiiko e Kyankwanzi n'ayisa amaaso n'abuuza abalwanyi nti, Majambere nga simulaba era nti yamuwa mmotoka amunone mangu era olwatuuka olukiiko ne lutandika.

Majambere (59) yatemuddwa ku wiikendi era n'aziikibwa mu kitiibwa ku kyalo Kitebere mu ggombolola y'e Makulubita mu Luweero. Pulezidenti Museveni yatumye Nnampala wa Gavumenti, Ruth Nankabirwa eyamukiikiridde ne yeetikka amabugo ga bukadde 10 ssaako okukola ku by'okuziika byonna.

Omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura naye yaweerezza amabugo ga bukadde 10, Brig. Proscovia Nalweyiso naye yazze n'obukadde 10. Okumanya Majambere abadde wa nkizo, olwatemuddwa muto wa Pulezidenti era omuwabuzi we ku by'ekijaasi, Gen. Salim Saleh yatuuse mamgu e Luweero, olwo poliisi ng'eri wamu n'aba Flying Squad ne batandika okusamba ensiko okuyigga abatemu.

Agambibwa okukola obutemu buno yasangiddwa Kawempe gye yabadde yeekukumye. ENGERI GYE YATEMUDDWA Majambere abadde yaweebwa obuvunaanyizibwa okukuuma mayiro ya Kangaawo (omwami wa Kabaka atwala Essaza ly'e Bulemeezi) eriri mu kitundu kino eririko abasenze era yali yabagaana okweyongeza.

Wabula omu ku basenze, Edward Nakibinge alinako yiika 10 yawalaaza empaka ne yeeyongeza era n'asaawa ogutundutundu wakati mu kwewerera Majambere n'akuhhaanya enku eziwerako n'azissa ku kkubo. Ku Lwokutaano, Majambere yaleese abantu okuzitikka ne wabalukawo enkaayana era Nakibinge kwe kumusaba bave awali abantu bateese ku mbeera eno era eno gye yamusanjagidde ebiso n'afa ng'atwalibwa e Mulago. Kigambibwa Nakibinge olwamaze okukola ettemu n'afubutukayo n'ejjambiya n'agoba abaabadde bazze okutikka enku nabo ne bamalamu omusulo. Wabula abatuuze abaabadde abanyiivu bakoonye enju, olusuku, edduuka, ente ebya Nakibinge ne babisaanyaawo.

POLIISI KY'EGAMBA Omuduumizi wa poliisi mu kitundu kya Savanna, (Luweero, Nakasongola ne Nakaseke) Julius Tusingwire yategeezezza nti ng'oggyeeko omutemu, baakuttte abantu abalala mukaaga bagiyambe okubuuliriza okusinziira ku kwekubira enduulu omugenzi kwe yali yatwala mu boobuyinza. Yasabye kkooti okwanguyangako okusala emisango gy'ettaka okwewala ettemu ly'engeri eno.

Yagambye nti batadde abaserikale mu bunyomero bwonna okuyigga abatemu b'emmundu n'ebiso abeesomye n'asaba abantu okuyamba poliisi okuloopa abantu ababeera ku pikipiki ne kabuuti. Capt. Sula Sserunjogi bwe baali mu nsiko n'omugenzi yagambye nti Majambere yali mwejaasi era yanyumyanga emboozi ne bateebaka ng'erinnya lino baaliggya ku nnagagga Omunyalwanda, Silas Majambere.

Abamu ku baana ba Majambere nga bali mu nnaku.

 Yagambye nti omugenzi yali nnaamwatulira era nga ky'asaba abakulu bakimuweerawo mu bwangu. Yasinganga kukola bukessi n'obukugu obw'enjawulo ng'akolagana n'abatuuze obwayamba abayeekera obutazinduukirizibwa basajja ba Obote n'okuziga awaabanga emmere.

Kansala w'eggombolola y'e Makulubita, Patrick Kisekwa Ssonko yategeezezza nti kati abantu basatu be baakatemulwa mu muluka guno ogwa Kanyanda mu ngeri eno omuli omukazi eyasanjagibwa ebiso nga yaakawangula omusango gw'ettaka n'eyakubwa amasasi ku kyalo Kiduukulu n'asaba poliisi eyongere basajja baayo kuba abantu bali ku bunkenke.

OBULAMU BWA MAJAMBERE Yazaalibwa 3/06/1956 ku kyalo Kitebere n'atandika okusoma mu Bulamba P/S n'akoma mu P.6 n'ayingira obusuubuzi ng'olutalo lwa 1980 bwe lwabalukawo ne yeesogga ensiko, bwe lwaggwa n'adda mu bulimi. Abadde musajja mucakaze ng'alese abaana abasukka mu 20.

Abadde mufuuyi wa bbidde ayogerwako ku kyalo ng'abatuuze baagambye nti olumu abaddenga abalaalika bw'agenda okunona ensimbi mu bakulu, olukomawo ng'abagulira omwenge n'okubaduulira.

Mu kuziika, abatuuze baasabye Gavumenti esseewo ensawo ey'enjawulo esobozesa abeebibanja okwegula bafune ebyapa n'obwannannyini obw'enkomeredde kikendeeze ku nkaayana n'okuttihhana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...