TOP

Abakugu boogedde ekyaviirako ekizimbe ky'e Makerere okutta abantu

Added 14th April 2016

Abakugu boogedde ekyaviirako ekizimbe ky'e Makerere okutta abantu

 Abakungu okuva mu UNBS nga beetegereza ebyakozesebwa mu kuzimba.

Abakungu okuva mu UNBS nga beetegereza ebyakozesebwa mu kuzimba.

ABAKUGU mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebintu ebikozesebwa mu ggwanga, UNBS bagambye nti emitayimbwa egyakozesebwa okuzimba ekizimbe ekyasse abantu e Makerere, gyali gyawerebwa dda.

“Bw’olaba emitayimbwa egyakozesebwa olabira ddala ng’akabenje kaavudde ku bugayaavu bw’omugagga nnannyini kizimbe ne yinginiya kuba emitayimbwa gye baakozesa gyawerebwa dda mu Uganda kubanga minafu nnyo”, John Ssanyu avunaanyizibwa ku bikozesebwa mu kuzimba okuva mu UNBS bwe yategeezezza.

Yagambye nti omusenyu ogwakozesebwa gwali mungi n’amayinja okusinga seminti nga n’empagi eziwanirira ekizimbe nga temuli seminti amala. Yagambye nti baatutte ebifunfugu okuzuula ekika kya seminti eyakozesebwa balabe oba yali mutuufu.

Mu kiseera kye kimu amyuka akulira ekitongole kya poliisi ekizikiriza omuliro, Hassan Kihanda yagambye nti baaleese embwa eziwunyiriza okuzuula emirambo egikyasigaddeyo.

Yagambye nti mbwa zirina obusobozzi okuwunyiriza omuntun wamu n’ebyuma nga n’ekifo awali mmotoka bajja kutegeerawo. Abantu abaafudde bakyali bana ng’abapooca n’ebisago bali mukaaga nga waliwo n’omulala Airpal Bansal eyatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago n’ebisago bye yafunye okuva mu kizimbe. Abajjanjabirwa mu ddwaaliro e Mulago abasawo bagamba nti batandise okufunawo enjawulo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...