TOP

Okuddaabiriza Mulago kuleetedde Abalwadde okusoberwa

Added 14th April 2016

Okuddaabiriza Mulago kuleetedde Abalwadde okusoberwa

 Mulago

Mulago

Mu nteekateeka ya Gavumenti ey’okuzza eddwaaliro ly’e Mulago obuggya baasalawo abalwadde abajjanjabibwa mu Mulago omupya okudda mu mukadde abafisse bagende mu malwaliro ga KCCA okuli Kawempe n’e kiruddu erye Makindye.

Bazze bassaawo nsalessale wa Mulago okukola naye ennaku bazze bazongerayo kuba gye balaga tewanaggwa. Nsalessale asembyeyo yali wa April 1, 2016 naye bakyasobeddwa. Omwogezi w’eddwaaliro, Enock Kusasira agamba nti omulimu gwatandika November 15, 2014 nga gusuubirwa okukomekkerezebwa mu November, 2015 olwo ekitundu ekyokubiri nayo kitandike. “Kati bali mu kuddaabiriza n’okuzimba bbulooko A oluvannyuma batandike ku bbulooka B mu Mulago omupya. Abalwadde bonna tebagenda kukyusibwa.

Abagenda okukyusibwa tugenda kukikola mpolampola mu bbanga lya wiiki bbiri oba ssatu okuva kati” bwe yagambye. Yategeezezza nti eddwaaliro ly’e Mulago olunaku lifuna abalwadde nga 6,000 ab’endwadde ez’enjawulo. Wabula eddwaaliro ly’e Kawempe lisobola kutwalako abalwadde abali wakati wa 130-150 ate e kiruddu abalwadde nga 200.

Abalwadde 240 baakuweerezebwa mu mulagoomukadde. Kye twebuuza olwo abasigadde banaalaga wa? Abamu ku bagenda okusengulwa beebo abagudde ku bubenje, abalwadde abeetaaga obujjanjabi obw’amangu n’abalwadde ba ssukaali, abazaala n’okunywa eddagala. Kusasira agamba nti ssinga amalwaliro gye bagenda okudda gaggwa, omulimu gw’okuddaabiriza Mulago gusuubirwa okumala emyezi mwenda.

Mulago ng'eri mu kuddaabirizibwa

 

Mu kiseera kino twetaaga abalwadde abo bokka abaweerezeddwa okuva mu malwaliro amalala nga galemereddwa. Abo abajja obutereevu ennaku zino tubasindika Naggulu ne mu malwaliro amalala.

Okusenguka twafunye emmotoka ezitambuza abalwadde 10. Abafunye obubenje n’ebyakagwawo eby’amaanyi, abeetaaga okulongoosebwa, ab’amaaso, abalina endwadde ez’amatu ennyindo n’emimiro baakusigala mu Mulago omukadde. E Kawempe waakugendayo abembuto ate e Kiruddu waakutwalibwayo ab’alwadde ba ssukaali n’endwadde ezisiigibwa.

Dr.Asuman lukwago omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’eby’obulamu agamba nti enteekateeka eno yatandika March 24, 2016 n’okujjulula ofiisi z’abakulira eddwaaliro. Omulimu gino gwa kusaasaanyizibwako obukadde 88. Ssente ezo za kweyambisibwa okutambuza abalwadde, ebyuma ebikozesebwa abasawo n’ebissibwa ku balwadde.

“Tetusobola kutambuza balwadde bonna omulundi gumu kubanga ebimu ku bikozesebwa mu malwaliro amapya tebiriiyo. Balina okusooka okubissaayo ne tutwala abalwadde.” Dr. Lukwago bw’agamba. Agamba nto newankubadde eby’okukyusa abalwadde biri bityo awagenda okutwalibwa abalwadde wakyakolebwako.

Enock Kusasira omwogezi w'eddwaliro ekkulu e Mulago

 

Kkampuni ezizimba ziri mu kumaliriza okuzimba, okusiiga langi n’okussaamu ebitanda. Wabula abalwadde abali mu woodi nga bali ku byuma bayinza okutwalibwa muMulago omukadde kuba ebyuma bye baliko tebitambuzika.

Abasawo abamu enteekateeka eno tebaagisanyukira. Bagamba amalwaliro gye babatwala wafunda, ebikozesebwa bayinza obutafuna bimala n’ebizibu ebirala. Wabula Dr. Lukwago yagambye nti abasawo abaneesisigiriza bajja kubonerezebwa kuba mu kuweebwa emirimu bakkiriza okukolera mu mbeera zonna.

Okusinziira ku bantu ab’enjawulo kino bakisiimye kuba omujjuzo gugenda kukendeera. Wabula embeera eyinza okukaluubirizaamu abalwadde abamanyidde mulago yekka. Ggwe teebereza omukyala avudde e kaliisizo, kiboga oba Luweero asindikiddwa e Kiruddu gy’atatuukanga.

Olw’okuba abantu abamu balowooza nti eddwaaliro ly’e Kawempe yatandika okukola abali ku mulimu gw’okuyooyoota bagamba olunaku bafuna abakazi abembuto bataano abajja okufuna obujjanjabi wabula ne babalagira okugenda e Mulago oba eddwaaliro eddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...