TOP

Ebya loodi mmeeya okudda mu office bikyazibuwadde

Added 15th April 2016

Ebya loodi mmeeya okudda mu office bikyazibuwadde

 Lukwago, Allan Ssewannyana ne Abdu Katuntu nga bava ku kkooti

Lukwago, Allan Ssewannyana ne Abdu Katuntu nga bava ku kkooti

OMUMYUKA wa ssaabalamuzi Stephen Kavuma akakkaanyizza ne loodi meeya ku by’okudda mu ofiisi n’amutegeeza nti asooke alindeko okutuusa nga omusago guwuliddwa.

Kavuma alagidde Lukwago era addemu awandiikire kkooti ng’agitegeeza mu butongole omusango gwe gulyooke gutandike okuwulirwa mu  nnaku ntono ng’alonze abalamuzi basatu abakwatibwaako.

Kino Loodi meeya akikkirizza n’agamba nti amaze ebbanga lya myaka egisoba mu 2 ng’alinze era ebyokuyingira ofiisi abiyimirizza okutuuka ng’atuukirizza ebyomumyuka wa ssaabalamuzi Kavuma kyamugambye. “Ku Mmande ba looya bange bakeera kuwandiikira mumyuuka wa ssaabalamuzi Kavuma bbaluwa  , omusango omusango gutandike okuwulirwa  mu nnaku ntonga nga bwagambye oluvanyuma nyingire ofiisi nga tewali muziziko gwonna.” Lukwago bweyagambye oluvanyuma lwolukiiko.

Kavuma  yategese olukiiko okutabaganya enjuyi za bannamateeka okuli  bannamateeka ba KCCA abaakulembeddwa Charles Ouma, aba ssaabawabuzi wa Gavumenti abaakulembeddwa Martin Mwambusya n’aba Erias Lukwago abaakulembeddwa Moses Walubiri ng’ali ne Medard Ssegona ssaako Abdul Katuntu.

Owa KCCA Charles Ouma yagambye nti ofiisi esigadde nzigale okutuusa nga omusango guwuliddwa nga bwe bakiriziganyizza era Lukwago takirizibwa kuyingira ofiisi.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...