TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Chris Mubiru bamugobye ku busika lwa kutunda bintu bya famire

Chris Mubiru bamugobye ku busika lwa kutunda bintu bya famire

Added 20th April 2016

Chris Mubiru bamugobye ku busika lwa kutunda bintu bya famire

 Chris Mubiru nga bw'afaanana

Chris Mubiru nga bw'afaanana

FAMIRE y’eyali  omukuza wa Kabaka Daudi Chwa II, Stanley Kitaka Kisingiri etudde ku mu maka g’Omumbejja Beatrice Muggale (Nnamwandu) e Mengo n’ewandiikira Ssabasajja ebbaluwa ng’eyita mu mukulu w’ekika ky’e Mmamba Kakoboza, omutaka Nankere Lugala ng’emutegeeza nga bw’eggye obwesigwa mu Chris Mubiru abadde omusika wa kitaabwe.

Mu bbaluwa eno ebadde eteereddwaako emikono abaana b’omugenzi bonna okuli Irene Nabitaka,David Nsubuga, Irene Nabawanuka, Peter Kitaka , Grace Kitaka n’Omumbejja Beatrice Muggale (nnyina wa Mubiru).

Ebbaluwa gye gye baawandiikidde Ssaabasajja Kabaka

 

Famire etegeezezza nti esazeewo okuggyako Mubiru ekifundikwa kya kitaabwe olwensonga nti azze yeeyisa mu ngeri etyoboola ekitiibwa kya famire y’omugenzi Kisingiri wamu n’okudibaga ebintu by’omugenzi bye yaleka omuli okutunda ettaka mu bukyamu wamu n’okusinga ebiggya n’amaka agasangibwa e Mengo mu bbanka afune ensimbi nga Nnamwandu n’abaana b’omugenzi tebategeezeddwako.

Bawunzise basaba  omutaka Nankere wamu n’olukiiko lw’ekika ky’e Mmamba okukkiriza okusaba kwabwe batuuse obubaka eri Ssabasajja Kabaka ng’eyita mu Katikkiro Charles Peter Mayiga.  

Yawandiikidwa nga 8/04/2016 wabula ng’ebadde erindiridde ab’enju bonna okuteekako emikono egisemba okusaba kwabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...