TOP

Bazadde ba Dr. Nyanzi eyeeyambudde bamulagidde yeetonde

Added 20th April 2016

BAZADDE ba Dr. Stella Nyanzi bamulagidde yeetondere Kabaka, ab’ekika kye eky’Embogo ne Bannayuganda bonna olw’okweyambula mu lujjudde n’abawemula.

 Dr. Nyanzi ng’ayambadde engoye oluvannyuma lwa ofiisi ye okuggulwa. Abatuuze b’e Kalinga Masaka nga basoma ku Dr. Nyanzi mu Bukedde.

Dr. Nyanzi ng’ayambadde engoye oluvannyuma lwa ofiisi ye okuggulwa. Abatuuze b’e Kalinga Masaka nga basoma ku Dr. Nyanzi mu Bukedde.

BAZADDE ba Dr. Stella Nyanzi bamulagidde yeetondere Kabaka, ab’ekika kye eky’Embogo ne Bannayuganda bonna olw’okweyambula mu lujjudde n’abawemula.

Andrew Lwenswa taata wa Dr. Nyanzi yategeezezza nti yeewuunyizza muwala we okulaga obutali bumativu mu ngeri eno eyeewuunyisa era n’amulagira amangu ddala yeetondere ensi kubanga baaweebuuse nga famire.

Dr. Nyanzi ku Mmande yeeyambulidde e Makerere n’asigala bukunya ng’awakanya ekya Polof. Mahmood Mamdani akulira Makerere Institute of Social Research (MISR) kw’akolera (Nyanzi) okumusindiikiriza amugobe mu ofiisi n’ategeeza nti kino ky’ekyokulwanyisa kyokka kye yabadde asigazza kubanga azze yeekubira enduulu mu bakulu ab’enjawulo n’atayambibwa.

Lwenswa omukuza wa Dr. Nyanzi, yagambye nti ayagala muwala we yeetondere eggwanga, mukama we, abakozi mu Makerere ne ku lw’enju kubanga famire eno erimu abantu ab’ebitiibwa bangi nga bw’atakikola bagenda kusigala nga baswavu mu bantu.

Dr. Nyanzi muwala w’abagenzi Dr. Joseph Nyanzi eyakulirako eddwaaliro ly’e Mengo ne Harriet Nyanzi. Lwenswa yategeezezza nti Stella yakulira mu Kizungu e Masaka bazadde be we baasooka okubeera oluvannyuma ne basenguka okugenda mu kyalo e Kalinga, Buwunga disitulikiti y’e Masaka.

Omugenzi Dr. Nyanzi

Bazadde ba Stella baayawukana bw’atyo kitaawe n’afunayo omukyala omulala. Stella azze akola ebintu ebyewuunyisa, olumu yagenda ku malaalo ga nnyina ne yeekubisa ebifaananyi n’abaana nga batudde banywa caayi n’abiteeka ku ‘Facebook’.

Jjajjaawe we, Anna Maria Nayanje yagambye nti ne gye buli kati batya okutambula mu bantu olw’ekikolwa kya muzzukulu waabwe.

“Omwana yakuzibwa mu nneeyisa y’obuwangwa naye atuuka atya e Kampala n’akola ebituswaza” bwe yeewuunyizza.

Yasabye abantu abaalabye ku butambi buno babasonyiwe nti kuba abaali bamanyi Dr Nyanzi yali musajja mwetowaze, ow’empisa era nga yazimba erinnya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?