TOP

Bamusibye lwa kukwata wa myaka 70

Added 21st April 2016

YASOOSE kuwulira akoona ku luggi, mukaziwattu n’awawamuka ng’alowooza nti ababbi bamuzinze.

 Mutumba agambibwa okukwata nnamukadde.

Mutumba agambibwa okukwata nnamukadde.

 

YASOOSE kuwulira akoona ku luggi, mukaziwattu n’awawamuka ng’alowooza nti ababbi bamuzinze.

Yabadde akyasiriikiridde, yeekanze omuntu amutuuseeko ku kitanda era okumwetegereza nga ye muliraanwa Mutumba gw’atwala nga muzzukulu we. Yayanguye okumwesooka n’amugamba nti, “Jjajja waliwo ampadde 2,000,000/, okukutta era 100,000/- nzirina mu mpeke ng’endala ajja kuzimpa nga malirizza misoni ye”, Livingstone Mutumba bwe yategeezezza nnamukadde ow’emyaka 70.

 

Yasanyuse n’amwebaza olw’okubeera omuzzukulu omulungi kyokka essanyu lye teryawangadde bwe yakyusizza ffeesi n’amugamba nti bw’aba ayagala aleme kumutta akkirize bakole omukwano.

Jjajja yategeezezza poliisi nti, “bannange n’alowoozezza nti asaaga kyokka ekyaddiridde ku nkwata. Nagezezzaako okwerwanako n’asinza amaanyi ate mu nnyumba nga nsulamu nzekka”.

Mutumba bwe yatuuse ku poliisi y’e Nakifuma yeesammudde nga bw’atannakwata nnammukadde n’agamba nti amutwala nga jjajjaawe era mu maka ge mwe bakulidde nga bazannya.

Ebbaluwa z’eddwaaliro zaakakasizza nga nnamukadde yakwatiddwa nga n’ebitundu byekyama byakoseddwa.

Akulira okubuuliriza ku misango ku poliisi y’e Nakifuma Davis Kalagala yagambye nti bagenda kukozesa ebyavudde mu ddwaaliro okumuvunaana Mutumba omukwata nnamukadde era nga fayiro y’omusango bagirina nga gye bagenda okutwala mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...