TOP

Trump ne Hillary bakukumbye obululu e New York

Added 21st April 2016

DONALD Trump oluwangudde essaza ly’e New York n’alangirira nti teri kigenda kumulemesa kukwata bendera ya kibiina kya Republican era kati obwanga abwolekezza Hillary Clinton owa Democrats.

Trump ne Clinton

Trump ne Clinton

DONALD Trump oluwangudde essaza ly’e New York n’alangirira nti teri kigenda kumulemesa kukwata bendera ya kibiina kya Republican era kati obwanga abwolekezza Hillary Clinton owa Democrats.

Ku babaka ba Republican 95 abaakubye akalulu mu ssaza ly’e New York, Trump yakukumbye 89 olwo b’avuganya nabo abalala ababiri; Ted Cruz ne John Kasich n’abalekera obululu 6 nga buno bwe baagabanye bombi.

Obuwanguzi buno bwazzizza amaanyi mu nkambi ya Trump eyabadde yaakawangulwa mu masaza 2 amatonotono agaalonda ku ntandikwa y’omwezi guno.

Mu kiseera kin,o Trump ‘aliisa buti’ anti yawezezza obululu 845 nga kati abuzaayo obululu 392 okuweza obululu bw’ababaka 1,237 bwe yeetaaga okuwangula kkaadi y’ekibiina kya Republican ekitunuuliddwa ng’ekirina enkizo okuwangula mu kalulu akanaakubwa nga November 18, 2016 okulonda anaddira Barack Obama mu bigere.

Cruz, nga y’akyaddiridde Trump, ebintu byamuyisizza bubi nnyo mu New York bwe yalemeddwa n’okukwata ekifo ekyokubiri n’amaliriza nga y’asembye era ku bululu 95 yafunyeeko 2 bwokka. Kasich yafunye obululu bw’ababaka 4.

Donald Trump owa Republican ne mukyala we Melania nga batuuka e Manhattan, New York ekiro ekyakeesezza eggulo

Cruz kati yeetaaga obululu 678 bw’aba waakuwangula Trump, kubanga mu kiseera kino akyakonedde ku bululu 559.

Trump yasinzidde New York ku kabaga akeebaza abamuwagidde n’agamba nti Cruz amulaba ng’eyawanduse edda era talaba gy’ayinza kukung’aanya bululu 678 kubanga baakalonda mu masaza 29 ng’agasigaddeyo ge matono.

Amerika erimu amasaza 50. Ku ludda lw’ekibiina kya Democrats, Hillary, ow’emyaka 68 (muka Bill Clinton, eyaliko Pulezidenti wa Amerika) yawangulidde waggulu era obuwanguzi mu New York bwamutuusizza ku bululu 1,930 ng’abuzaayo 453 bwokka okuwangula munne kinvinvi Bernie Sanders ow’emyaka 74 (alina obululu 1,189).

Obuwanguzi bwa Hillary bwesigamye nnyo ku ngeri gy’awagiramu pulogulaamu za munnakibiina ali mu buyinza, Barack Obama.

Hillary Clinton ng’awaga bwe yabadde azze ku katuuti e okubuuza ku bawagizi be mu kiro ekyakeesezza eggulo mwe yawangulidde akamyuku k’aba Democrats (DP) e New York.

 

Kyokka wakati mu ssanyu ly’obuwanguzi, Trump yafunyeemu ennyiike olw’okumuwangulira mu kifo w’abeerera ddala era w’alina bizinensi ez’amaanyi ekiyitibwa Big Apple mu massekkati g’ekibuga Manhattan ekiri mu ssaza ly’e New York.

Ababadde bataagalira ddala Trump olw’amalala, amafandali n’ebigambo eby’obusagwa by’afukumula, batandise okukkiriza nti alindiridde buwanguzi era ayinza okwekiika mu kkubo lye ery’okufuuka Pulezidenti wa Amerika ayinza kubeera Hillary Clinton yekka mu kalulu ka November.

Okulonda okuddako mu ssaza ery’amaanyi ery’e Indiana okw’okubeerawo nga May 3, 2016 kwe kusuubirwa okumalirawo ddala essuubi ly’okumegga Trump, bw’anaaba nalyo aliwangudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...