TOP

Ebya Dr Stella Nyazi biwanvuye

Added 24th April 2016

Ebya Dr Stella Nyazi biwanvuye

 Stella Nyanzi

Stella Nyanzi

OLUKWE lw’okugoba Dr. Stella Nakyanzi lwatandise amangu ddala nga yakeeyambula ku Mmande.

Bwe yazziddwa mu ofiisi amaloboozi gaavudde mu buli nsonda agalaga nga waliwo ekyabadde kirina okukolwawo okuzza embeera mu nteeko.

Akulira yunivasite Polof. Ddumba Ssentamu yabadde amaze okwessa mu kaseera akazibu bwe yalagidde Dr. Nyanzi addizibwe ebisumuluzo bya ofiisi.

Akulira ekitongole kya Makerere Institute of Social Research(MISR) Polof. Mahmood Mamdani yabadde amaze okukaluubiriza Polof. Ddumba embeera bwe yagambye nti Dr. Nyanzi ateekwa okuva mu kitongole ekyo.

N’agattako nti yandibadde yagenda dda naye alina oluganda ku Polof. Ddumba y’amubikkirira. Mamdani naye byamuzingiddemu olw’engeri gy’akolamu emirimu gye ng’alina obutakkaanya n’abakozi abalala.

Ku basatu wabadde wateekwa okubaawo addako ebbali ensonga za Makerere okusobola okukkakkanyizib wa.

Enkiiko ez’enjawulo zaatudde ne kisalwawo Dr. Nyanzi addeko ku bbali okuwa akakiiko omukisa okubuuliriza ku nsonga z’e Makerere.

Ebyo okubaawo abayizi, abasomesa n’abantu abalala ebweru wa yunivasite baabadde bamaze okusalira Nyanzi omusango nti mu kweyambula yayiseewo.

Ku Lwokutaano, akakiiko akavunaanyizibwa ku kugaba ebifo aka Appointments Board kaafulumizza ekiwandiiko ekyagambye: oluvannyuma lwa Dr. Nyanzi okweyambula, twatudde ne tusalawo okuyimiriza Nyanzi embagirawo okutuusa ng’akakiiko akassiddwaawo kamalirizza okubuuliriza.

Akakiiko kakulirwa Hajati Sharifah Buzeki owa minisitule ekola ku bakozi ba Gavumenti, Polof. Sarah Kiguli w’e Makerere, Dr. Sarah Ssali ne Jude Mbabaali okuva mu Uganda Law Society.

Akakiiko kagenda kwekenneenya ensonga zino ku MISR: Engeri gye batambuzaamu emisomo gya Phd, Engeri gye batambuzaamu okunoonyereza, akakwate akaliwo wakati w’abakola okunoonyereza n’enteekateeka z’okusomesa abayizi ba Phd, Abakozi abaliyo n’ani abavunaanyizibwako.

Okunoonyereza ku butakkaanya obuliwo wakati wa Polof. Mamdani ne Dr. Nyanzi, okwekenneenya embeera y’abakozi ku MISR n’enkozesa y’ensimbi n’ebintu bya MISR.

Akakiiko katandika emirimu gyako enkya ku Mmande kaweeyo lipoota mu nnaku 25. Dr. Nyanzi yataddewo ekyafaayo ky’omukazi omuyivu okweyambula.

Kyamuyambye okudda mu ofiisi kyokka amazeemu ennaku ssatu zokka n’ayimirizibwa. Anadda ku mulimu? Kiyinza okuba ekizibu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...