TOP

Ebbuba limuyitiriddeko n'ayokya omwana amazzi

Added 24th April 2016

Ebbuba limuyitiriddeko n'ayokya omwana amazzi

 Raymond ng'apooca n'ebiwundu e Mulago

Raymond ng'apooca n'ebiwundu e Mulago

OMUKAZI ow’ebbuba akutte omwana wa muggya we n’amuyingiza mu nnyumba ng’amaze okufumba amazzi ageeseze n’agamuyiira ne gamubambula olususu lwonna.

Sharon Nakabugo omutuuze mu Zooni V e Bbiina Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo nga kigambibwa nti yafumbye amazzi ne geesera bulungi n’ayita omwana wa muggya we Regina Nakazzi n’agamuyiira.

Mu kiseera kino omwana Raymond Ogidoso, 5, ali mu kujjanjabibwa mu waadi 2C e Mulago we bajjanjabira abookeddwa omuliro ne asidi. Nakazzi yakoze sitetimenti ku poliisi e Mutungo ng’alumiriza muggya we Nakabugo okumwokera mutabani we olwa bbaabwe Rogers Nayigono omuvuzi wa takisi e Mutungo - Luzira okumuseera ebisanja.

Nakazzi, 25, ng’akola nviiri mu saluuni emu e Nansana agamba nti, Nakabugo aludde ng’amwewerera okumutuusaako obulabe era abadde amulondoola. Nakazzi ne Nakabugo basula mu kitundu ky’ekimu era bamaze ebbanga nga bawalaggana olw’omusajja.

Baliraanwa ba Nakazzi be baamukubidde essimu ng’ali mu mulimu ne bamutegeeza nga muggya we bw’ayingiza omwana we mu nnyumba ye n’amwokya amazzi.

Nakazzi yagambye nti omwana basoose kumuddusa mu kalwaliro ka Bendict e Luzira n’afuna obujanjabi obusookerwa n’oluvanyuma ne bamutwala e Mulago.

Nakabugo yaguddwaako omusango gw’okwokya Ogidoso ku fayiro nnamba SD:15/14/04/2016. Akulira bambega ku poliisi ya Jinja Road, Herbert Akankwasa yategeezezza nti, Nakabugo agenda kusimbibwa mu kkooti avunaanibwe amangu ddala ng’okunoonyereza kuwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...