TOP

Eyaloopye bofi isa ba poliisi okubba bamutaddeko emisango

Added 30th April 2016

Eyaloopye bofi isa ba poliisi okubba bamutaddeko emisango

 Mugarura aliira ku nsiko.

Mugarura aliira ku nsiko.

OFIISA wa poliisi eyakoze lipoota ng’aloopa abakungu mu poliisi b’alumiriza nti bakolagana n’abazigu ne bagabana omunyago, ali mu kattu. Bamugguddeko emisango esatu okuli n’okujeemera ebiragiro bya bakama be, okwebulankanya ku mulimu n’obubbi era kati amaze ennaku bbiri ng’aliira ku nsiko.

ASP Steven Mugarura ng’akolera ku kitebe kya poliisi e Naggulu yasindikidde omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura lipoota ssatu ku buzigu bw’azze aanoonyerezaako wabula n’akizuula nti bujja kuba buzibu okumalawo kubanga ebimu ku bibinja by’ababbi bikolagana ne boofiisa ba poliisi ab’amadaala aga waggulu. Yanokoddeyo bana okuli AIGP Grace Turyagumanawe ne SSP Andrew Kaggwa.

Lipoota Mugarura ze yakoze ziraga nti poliisi bw’ekwata omuzigu ali mu kibinja ekikolagana ne ofiisa yenna, akuba essimu ku poliisi ebeera eggalidde omubbi n’alagira ne bamuyimbula bunnambiro. Mu nkola eno, ababbi abamanyiddwa ab’olulango poliisi zaabavaako kubanga okubakwata entakera kiyinza okuviirako okukyusibwa oba okuteekebwa ku ‘katebe’ nga bakulaba ng’alemesa ddiiru z’abanene.

Yagasseeko nti boofiisa bagabira ababbi emmundu ate olulala ne bapanga n’ababbi ne basindika abaserikale mu kkubo ly’ababbi; olwo ababbi ne bakuba poliisi ne bagisinza amaanyi ne bagibbako emmundu era ezo z’ezikozesebwa mu bubbi.

Yanokoddeyo Okurut eyali akolera e Njala mu Kamwenge gwe batta oluvannyuma lw’okumubbako emmundu

Grace Turyagumanawe omu ku be yaloopye.

 Turyagumanawe yeewozezzaako  

Dayirekita w'ekitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku mirembe n'obutebenkevu, AIGP Grace Turyagumanawe yategeezezza Bukedde nti: Mugarura ali mu kitongole kya CID (ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, ate nze ebbanga lyonna mbadde mu bikwekweto era ng’abantu be nninako obuvunaanyizibwa ba DPC ne ba RPC noolweko sirina we nkwataganira na ba CID bwe mbeera nnina kye njagala bannyambeko mpita mu mukama waabwe Grace Akulo dayirekita munnange.

Emyaka 28 gye mmaze mu poliisi mbadde DPC, RPC, omuduumizi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano ne nduumira ebikwekweto mu ggwanga kati nvunaanyizibwa ku mirembe n'obutebenkevu. Obuvunaanyizibwa obwo bwonna mba sirina bwe nkwata mmundu ate nziwe ababbi.

Essaawa eno nze nvunaanyizibwa ku bifo awaterekebwa emmundu ku buli poliisi mu ggwanga lyonna, kati olwo bwe nkwata emmundu ne nziwa ababbi eggwanga liba terigenda kufuuka matongo?

Simanyi kigendererwa kya muvubuka (Mugarura) oyo naye bw’aba taliiko kikyamu, kyandiba ng’alina amukozesa kubanga siyogerangako naye wadde omulundi ogumu, era sitegeera ky’anjagaza. Mbadde ntera okumulaba ku kizimbe wano (e Naggulu) naye sikolaganangako naye ku nsonga yonna.

Joint Operations Committee (JOC) ne National Security Committee (NSC) biteekeddwa okunoonyereza era Mugarura aleete obukakafu ku bintu by’ayogera naye bwe binaamulema okunnyonnyola n'okuwa obukakafu, ajja kuvunaanibwa. Tayonoonye linnya lya Turyagumanawe lyokka naye ayonoonye linnya lya poliisi. Ffe mu poliisi tulina ensonga nnyingi naye tuzigonjoolera munda.

Alina emisango gy’alina okuvunaanibwa era agasseeko emirala egy’okukwata ensonga mu ngeri ekontana n’enkola ya poliisi n’okwonoona amannya ga boofiisa. Abantu be yeemulugunyizaako abalala SSP Andrew Kaggwa twakolako naye mu biseera by’okulonda bwe bansindika okukulira ebyokwerinda mu bitundu bya Elgon gye namusanga nga ye RPC ate nga nze ntuula Mbale awo ne tuba nga tukolagana butereevu.

 Lipooti sigirabangako naye abantu nga Musinguzi b’ayogerako nti be bamu ku bakulira ebibinja by’ababbi be tukolagana nabo, nze sibamanyi okuggyako Kaggwa ye engeri gye yagambye nti bava ku kyalo kimu alabika amumanyi.

IGP Gen. Kale Kayihura musajja atambulira ku mulamwa n’amateeka era lipoota bw’aba gwe yagiwandiikira singa ffenna b’alumiriza baatugoba dda kubanga ye tayagala bantu bakolera wansi wa linnya lye nga ba mpisa nsiiwuufu.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yategeezezza nti Mugarura yagguddwaako emisango ku SIU e Kireka ne ku kitebe kya poliisi e Naggulu. Enanga yagambye nti mu gimu ku misango gye baamuvunaanye kuliko ogw'okugaana okugenda ku mirimu gye baamusindika mu kitongole kya Anti - Stock Theft Unit (ASTU) e Katakwi, wabula Mugarura yategeezezza Bukedde nti bwe yagenda e Katakwi yasanga boofiisa ab’amadaala aga waggulu baweerezza obubaka obumugaana okukolerayo era n’azzibwa e Naggulu w’amaze emyaka esatu ng’ali ku ‘katebe’.

Enanga yagambye nti beetaaga Mugarura atandike okuwerennemba n’emisango gye kyokka akyebulankanya era n’amuwa amagezi yeeyanjule ku poliisi kubanga emisango tayinza kugimaza mbiro! Wabula Mugarura yategeezezza nti bakama be abamu okutuuka okumuggulako olutalo kyaddirira okugwa mu buufu bw’ekibinja kya Musinguzi n’attunka nakyo.

Wakati mu kulwanyisibwa nti yalemerako era abamu ku baali mu kibinja kino n’abatwala mu kkooti n’akuhhaanya n’obujulizi bwonna era omulamuzi n’asingisaako babiri emisango. Charles Birungi ono yasibwa emyaka 5, Francis Kasolo yasibwa 6 ate Musinguzi aliko ekibaluwa ki bakuntumye okuwozesebwa emisango gy’obubbi obw’omutawaana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...