TOP

Omukozi abbye omwana omusajja n'atabukira mukyala we

Added 16th May 2016

Omukozi abbye omwana omusajja n'atabukira mukyala we

 Omwana eyabbiddwa

Omwana eyabbiddwa

OKUVA olubuto lwa Faridah Kobusingye bwe lwaweza emyezi omusanvu, ye ne bba (Ivan Serubiri) baatandika omuyiggo gw’omukozi w’awaka alirera bbebi waabwe era buli omu n’asaba abeηηanda ze babakwasizeeko okufuna yaaya omutuufu anaalera Sweet Boy’. Sikaani z’eddwaaliro zaali zaabalaga nti ali mu lubuto lwa mwana mulenzi. Bwe yazadde omwezi oguwedde, abafumbo kata essanyu libaabye era ‘Sweet Boy’ waabwe ne bamutuuma Morishod Kagumaho.

Wabula Faridah yanenyerezzaawo munne nti, “Naye Ivan oli mugayaavu! Ggwe n’abeewammwe mubulwa mutya yaaya?

Kati nze owoolukindo ηηenda kukola ntya!” Wano ne Ivan we yaddiramu mu mukwano nti, “Hane, ekirungi tokyali muzito. Nnyambaako tunoonye babiri.

Sweet Boy oyo nange mmulaba muzito nnyo ajja kukunuula emikono.” Biba tebiri busa ng’abooludda lwa Ivan bafunye akawala akatoototo kyokka Faridah n’ategeeza nti, “Wadde kakyafuka ku buliri naye kasita kasobola okusitula omwana.

” Oluvannyuma zaaleese omuwala ayagala okumulagirira awali poliisi. Ono yasuddewo ekiboozi nti gy’abadde akola nga yaaya, mukama we yamugobye kyokka n’agaana okumusasula nga yabadde amutwalira poliisi.

Faridah yamulagiridde era oluvannyuma lw’ennaku bbiri yakomyewo n’alumuviira ku ntono. “Maama nkomyewo kukwebaza. Mukama wange poliisi yamukutte n’emuggalira wabula bw’oba olinayo omulimu gwonna nnyamba ogumpe.

Nnaku ya butansasula y’entuusizza ku poliisi naye mmami ndi mukozi wa mpisa era omuwulize.” Mu nnaku bbiri zokka ng’amuwadde omulimu.Kati Faridah ne Ivan ge bakaaba ge bakomba kuba yaaya yabuzeewo n’omwana ekireese n’enjatika mu bufumbo bwabwe. Abafumbo bano babeera mu Mutundwe Zooni A mu Munisipaali y’e Lubaga mu Kampala.

Ivan Serubiri yaggudde ku Faridah Kobusingye omusango gw’okwekobaana ne Saidat Nakafeero, eyababbyeeko bbebi Morishod Kagumaho oluvannyuma lw’ennaku bbiri zokka nga bamuwadde omulimu gw’obwayaaya.

Ekituusizza omusajja okusiba nnakawere agamba nti ali mu lukwe ne yaaya okumutunda. Omusango guli ku poliisi y’e Nateete ku fayiro SD 41/12/05/2016. KOBUSINGYE

ANNYONNYOLA:

Tuludde nga tunoonya yaaya naye emabegako twali twafunayo omuto ennyo nga takola bulungi mirimu ate ng’afuka ku buliri. Nabadde ndi waka, ηηenda okulaba omuwala akyama n'ansaba mmulagirire awali poliisi emuyambe ku bboosi we amugobye n’atamusasula nga kw’agasse n’okumwokera engoye.

Oluvannyuma lw'ennaku bbiri omuwala yakomyewo n'anneebaza nti mukama we poliisi yamusibye. Yansabye nti bwe mbaayo n’omulimu ngumuwe akole era olw’okuba yabadde alabika empisa n’okukola emirimu, namusabye abeerewo.

Yaηηamnti bamuzaala Kiboga kyokka olw’okutya nti Ivan (bba) ayinza okumugoba ng’ategedde engeri gye mmufunyeemu, nateesezza ne mukwano gwange, Aisha akkirize nti y’amunfunidde. Enkeera, omwami yakutte ssente n’aziwa yaaya omuto addeyo ewaabwe kuba twali tufunye Nakafeero omukulu ekimala. Wabula ku lunaku lwennyini akawala lwe kaagenze, ne Nakafeero lwe yanzibidde omwana.

Nagenze okugula eyatayimu ku dduuka nga njagala okukuba essimu manye oba yaaya gwe twagobye atuuse bulungi. Ku dduuka namazeeyo eddakiika ttaano nga nnyumya ne mukwano gwange wabula nagenze okudda awaka nga Nakafeero taliiwo nga ne bbebi wange simulabako. Okukebera awabeera engoye z'omwana ng'ensawo teriiwo. Awo we nategeeredde nti omwana wange bamubbye ne nkuba enduulu.

Twaloopye ku poliisi ne tunoonyako ffenna nga buteerere. Nakubidde baze essimu ne mmutegeeza kyokka kinneewuunyisizza okunneefuulira n’ansiba nti nalagajjalidde omwana we.

SSERUBIRI AYOGEDDE:

Faridah mukyala wange naye by’ayogera mbikubyemu ebituli. Yaηηamba mukwano gwe Aisha ye yamufunira omukozi kyokka olubbye omwana, Aisha by’aηηamba tebikwatagana nange kwe kumutwala (Aisha) ku poliisi n’emuggalira.

Eno gye yalonkomedde Faridah bwe yamusaba annimbe nti ye (Aisha) yali atufunidde yaaya. Kino ate kyayongedde kunnyiiza ne ndagira poliisi eggalire Faridah olw’okulagajjalira omwana wange ne bamubba mu ngeri etetegeerekeka.

Simanyi lwaki yasazeewo okulimba ku muntu gw’atamanyi ate nga maama abadde atunoonyeza omukozi! Omusango gwe mmuvunaana gwa kunzibira mwana era njagala poliisi ezuule ekituufu.

POLIISI KY’EGAMBA:

Atwala poliisi y'e Nateete, Joseph Nsabimaana yagambye nti Kobusingye yateereddwa ku kakalu ka poliisi olw'embeera gy'alimu ate nga n'obujulizi obumulumiriza tebuliiwo kyokka ng’okunoonya omwana kukyagenda mu maaso.

Ye landiroodi w’ennyumba okusula abafumbo bano, Paul Nsubuga yagambye nti Nakafeero nga tannagenda wa Serubiri yatuukira ku ye n'amubuuza oba amanyi awali omukyala eyaakazaala n’amulagirira ewa Faridah. “Oluvannyuma lw’ennaku bbiri nalaba ng’omuwala akola mirimu saafaayo nga ndowooza gwe nalagirira mu kusooka yali amanyi bulungi Baserubiri,” Landiroodi bwe yattottodde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku bamulekwa ba Ssentamu nga boogera mu kuziika kitaabwe.

Baganda ba Bobi Wine batabu...

EBYOBUGAGGA bya taata wa Bobi Wine bitabudde abaana ne batwala bannaabwe mu kkooti nga bagamba  nti  baagala kwekomya...

Joseph Kasibante ng'annyonnyola.

'Tusaba Gavumenti eyimirize...

AB'EKITONGOLE ekirwanirira eddembe ly'abantu abasasula emisolo, ekya National Tax Payers Association bavuddeyo...

Bobi

Ekitongole ky'omusolo kimez...

EKITONGOLE ekisolooza omusolo ekya URA kimezze Robert Kyagulanyi ( Bobi Wine) mu musango gw'emmotoka ye etayitamu...

Magogo ng'ayogera mu lukungaana lwa bannamawulire.

Nkomawo okwesimbawo ekisanj...

PULEZIDENTI wa FUFA Ying.  Moses Magogo alangiridde nga bwagenda okwesimbawo mu kisanja ekyokusatu mu August omwaka...

Fr. Joseph Kyakuwadde ng'asomesa mu Mmisa.

Abantu mweggyemu emitima eg...

Abantu mweggyemu emitima egy'obuggya, fitina n'obukyayi kuba bizing'amya  enkulaakulana y'ebitundu.  Fr. Joseph...