TOP

Bamulekwa balwanidde emmotoka ya kitaabwe omugenzi

Added 18th May 2016

Bamulekwa balwanidde emmotoka ya kitaabwe omugenzi

 Omuduumizi wa Poliisi y’e Jinja Felix Mugizi (wakati), ng’akkakkanya akakanya Nasif Ismail (ku kkono) ne mwannyina Madina Ismail .

Omuduumizi wa Poliisi y’e Jinja Felix Mugizi (wakati), ng’akkakkanya akakanya Nasif Ismail (ku kkono) ne mwannyina Madina Ismail .

EBYOBUGAGGA by’omugenzi Al-Haji Ramathan Ismail eyali omusuubuzi omututumufu mu Jinja, eyafa nga March 31, omwaka guno bitabudde abaana be ng’aba mukyalamukulu bagamba nti bebalina okubitwala ate abalala kye baawakanyizza.

Bamulekwa abazaalibwa mukyalamukulu, Asmat Shamim nga bakulembeddwaamu Ramathan Ismail ne Farouk Ismail baalumbye amaka ga mukyalamuto Yasmin Kababito e Bugembe mu Jinja ne kasiringi baggyeyo emmotoka ekika kya Prado TX nnamba UAV 364P, kitaabwe gye yalekayo kyokka abaana ne bagibalemesa Baabadde bawerekeddwa akulira bambega ba poliisi e Jinja, George Ochola wabula abaana ba mukyalamuto okwabadde Nasif Ismail, Klusum Ismail ne Madina Ismail baabatabukidde ne babalwanyisa nga kwe batadde n’okuwaanyisiganya ebisongovu.

Mu kavuvuηano, Ramathan Ismail yakutte ejjinja n’ayasa endabirwamu y’eddirisa ly’emmotoka ery’emabega. Nasif yalangidde muganda we gwe batwala ng’omukulu w’ekika nti bagezaako okuwamba maamawe e Mukono n’agamba nti buli kye bakola bakiraba.

Omu ku bamulekwa azaalibwa mukyalamuto Kababito ayitibwa Klusum Ismail yalangidde Poliisi okukozesebwa baganda baabwe ne bajja awaka okutwala mmotoka. Madina Ismail naye yanenyezza baganda be abazaalibwa mukyalamukulu olw’okulumiriza aba famire ye nti baawa kitaabwe obutwa n’afa.

Mukyalamuto Yasmin Kababito yategeezezza ng’abamu ku bamulekwa ba mukyalamukulu bwe baamuwambira mu mmotoka e Mukono bwe yali agenda mu ddwaaliro, kyokka Katonda yali akyali naye kuba baamuta nga baasooka kwogeraganya ku masimu.

Yasabye Pulezidenti Museveni ayingire mu nsonga za Al-Haji Ramathan Ismail batabaganye famire zombi. Omuduumizi wa Poliisi y’e Jinja Felix Mugizi yazze okutaasa embeera era yalagidde mmotoka eyabadde ebakaayanya okutwalibwa ku Poliisi y’e Jinja nga bwe bagezaako okubatabaganya.

Yagambye nti bajja kutuula n’aba famire bateese era byonna bwe binaagenda obulungi, kijja kubayamba okumanya omuntu omutuufu ow’okuwa emmotoka. Wabula abatuuze baavumiridde ekikolwa kya bamulekwa ba mukyalamukulu abaalumbye amaka ga mukyalamuto e Bugembe.

Al-Haji Ismail yafa nga March 31, 2016 n’aziikibwa e Kablistan e Jinja. Bwe yali tannafa, yakyalira mutabani we Nasif Ismail ku mulimu kyokka ne wayita olunaku lumu n’afa, banne kye bamusibako nti amanyi ekyatta kitaabwe.

Omugenzi Al-Haji Ismail yaleka bannamwandu babiri nga bombi baaluganda okuli Asmat Shamim ne mukyala muto Yasmin Kababito. Yaleka abaana 12 n’ebyobugagga ebiwerako bamulekwa bye batandise okukaayanira.

Poliisi ng’ekulemberwamu akulira abasawo mu poliisi, Dr. Moses Byaruhanga baasima entaana ne baggyamu ebisigala by’omugenzi Al- Haji Ismail ne babitwala okubyekebejja bazuule ekituufu ekuyavaako okufa kwe, luvannyuma lw’abaana obutamatira nfa ya kitaabwe. Okunoonyereza kukyagenda mu maaso, okuzuula ekyatta omugagga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...