
Edward Kyakuwa eyafumise muganda we ebiso n'amutta ate ku ddyo ye mukazi we Achan ng’apooca n’ebisago ku kitanda e Mulago.
OMUVUBUKA afumise muganda we ekiso n’amutta ng’amulumiriza okumusanga nga yeegadanga ne mukazi we mu buliri.
Edward Kyakuwa, omutuuze w’e Kazo Angola e Kawempe yakomyewo awaka ku ssaawa 5:00 ku makya ku Lwokuna n’ayingira mu nnyumba n’asanga mukazi we Pamera Achan, 23, ng’anyumya ne muganda we Ben n’atandika okubakuba ng’abalumiriza okubasanga nga basinda omukwano mu buliri.
Edward eyakazibwako erya Eddy obwedda akozesa ekiso n’akameeza okukuba muganda we Ben, awamu ne mukazi we.
Abadduukirize be baatutte Ben ne Achan mu ddwaaliro e Mulago wabula Ben n’afa ku Lwokutaano nga bukya.
Achan akyajjanjabibwa mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw’okufuna ebisago ku mutwe ne ku mukono.
Eddy abadde abeera ne Ben mu maka ga bakadde baabwe, Betty ne Dokita Mpanguzi abakolera ebweru w’eggwanga.
Eddy atalina mulimu gwakola, yakedde kuva waka era olwakomyewo n’atandika okuleekaana nti abakutte basinda omukwano.
Abadduukirize we baatuukidde mu maka gano, baasanze Achan ne Ben bali bukunya nga bonna bajojobadde omusaayi.
Lukia Nakacwa, muliraanwa yategeezezza nti famire ya Eddy bonna babeera Denmark. Agamba nti wadde nga bazadde be baayagala okumutwala ebweru, kyokka baakamukomyawo enfunda bbiri ng’era abadde abeera mu maka gaabwe.
“Bazadde be babadde bamuweereza endibota z’engoye n’ebintu ebirala eby’ebbeeyi kyokka nga byonna abitunda ku layisi.
Abadde akola effujjo n’okunywa enjaga, kyokka nga tagambwako kuba alina ssente. Bwe baabadde bamutwala ku poliisi obwedda awoza kimu nti owa ssente talemwa era ajja kudda ku katundu,” Nakacwa bwe yategeezezza.
Baliraanwa era baategeezezza nti Eddy abadde atera okuleeta abakazi mu nju eno eri mu kikomera n’abatulugunyizaamu awamu n’okunyweramu enjaga.
Baagambye nti bwe baawulidde emiranga baasoose kulowooza nti bye byabulijjo, kuba amaka gano tegaggwaamu ndolitto.
Abatuuze baagambye nti Eddy abadde asusse okutulugunya mukazi we, ng’olumu yamukubako ng’ali bukunya nga bw’amwetoolooza ekyalo kyonna.
Jesca Nalumansi, nnaabakyala w’ekitundu yagambye nti abatuuze be baamutemezzaako nga bwe batta omuntu era yagenze okutuuka nga Achan amufulumizza wabweru ate nga Ben ali mu mbeera mbi nnyo ne bamutwala mu ddwaaliro e Mulago gye yafi iridde.
Zubair Kavuma, ow’ebyokwerinda ku kyalo yagambye nti ekikomera kino mubadde mukuηηaniramu abanywi b’enjaga, kyokka nga bwe yatuukirira Eddy yamutegeeza nga bw’atalina kyabimanyiiko.
Akulira bambega ba poliisi e Kawempe ayitibwa Obongo yakakasizza okukwatibwa kwa Eddy n’ategeeza nga bw’akyakuumirwa ku poliisi y’e Kawempe.
Yagambye nti omusango gwasoose kubeera gwa kukuba muntu, kyokka nga kati gwakyusiddwa ne gufuulibwa ogw’obutemu ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.