TOP

Ow'emyaka 50 aguze malaaya n'afiira mu kikolwa

Added 1st June 2016

Owemyaka 50 aguze malaaya n'afiira mu kikolwa

 Mpande nga bwabadde afaanana

Mpande nga bwabadde afaanana

POLIISI ekutte bamalaaya abateeberezebwa okwekobaana ne batta ssemaka owabakyala ababiri abadde kasitaama waabwe ow'olulango ne beekwasa mbu yafiiridde mu kikolwa.

Charles Mpande myaka 50 omutuuze we Bumbo mu muluka gwe Buyijja mu gombolola ye Buwama mu Mpigi eyagenze okugula malaaya yesanyuseemu akiguddeko ba malaaya bwebekobaanye ne bamunyola ensingo ne bamutta nga kirowoozebwa nti baabadde baagala kumubbako ssente zeyabadde nazo.

Mpande eyazze ne mukwano gwe ategeerekeseeko erya Nyakuni ku looji za Henry Kivumbi ezimanyiddwa nga Mafu Mafu ezisangibwa eKyabadaaza mu gombolola ye Budde mu Butambala kigambibwa nti olw'esozze akasenge ne Nabatanzi baabadde bakatandika okwesanyusa Nabatanzi n'afuluma nga amuleseeyo naayita banne okuli Phiona Atuhaire ne Namugabo bamuyambeko okwambaza Mpande bamufulumye mu looji kuba ali bubi nnyo.

Owa Poliisi ng'alaga loogi Mpande mwafiiridde

Wabula babadde bamutuusa ku mulyango naafa era nebatandika okunoonya entambula okutwala omulambo kyokka owa boda boda gwebasoose okuyita yeyabalonkomye ku poliisi era okukakkana nga poliisi ebakutte bakatuusa omulambo gwomugenzi mu makage era bonna ne bakwatibwa.

Abakwatiddwa omunaana kuliko nannyini looji Henry Kivumbi ,Nyakuni eyabadde n'omugenzi era nga yayambyeko bamalaaya okutwala omulambo e Bumbo,Ssempala,Phiona Atuhire, Regina Nabunnya ne Nabatanzi agambibwa okuba nga yeyabadde ne Mpande mu kikolwa n'akutuka.

Wabula Nabatanzi yegaanye ebyokutta Mpande n'atageeza nti baabadde bakatandika okwesanyusaamu ne Mpande yagenze okulaba nga kasitoomaawe atandise okusesema bweyagenze okutemya ku banne baagenze okutuuka nga Mpande yeeyongera kubeera bubi baabadde baakatandika okumwambaza empale n'akutuka.

Nannyini looji Henry Kivumbi bino olwamugudde mu kutu nadduka kyokka poliisi n'esobola okumutaayiza era nakwatibwa naggalirwa nga poliisi bwekola okunonyereza.  Omulambo gw'omugenzi poliisi ye Buwama eguggyeyo ne gutwalibwa e Mulago okwekebejjebwa okusobola okuzuula oba nga ddala omugenzi basse mutte.

Abamu ku bamalaaya abaakwattiddwa abagambibwa okuyamba ku Nabatanzi okusitula omulambo gwa Mpande

Aboluganda lwa Mpande bagamba nti wandibaawo kobaane olwokutta omuntu waabwe kuba baamunonye bunonyi e Bumbo ne bamutwala wabula ne bakomyawo mulambo.  

Omugenzi alese bannamwandu babiri okuli Rose Mpande ne Teopista Nazziwa gwalinamu abaana 3 era nga alese n'abaana 6 kyokka Nazziwa mu kunyonnyola ku kya bba agambye nti abadde takimanyiko nti Mpanga agula ba malaaya era n'asaba poliisi enonyereze bulungi kuba kyandiba nga baamututteyo butwazi n'ekigendererwa kyokumutemula.

Abakwate batwaliddwa ku poliisi ye butambala enkulu eKibibi era agduumira poliisi ye aBuwama Ben Igama nategeza nti abakwate baguddwako dda emisabngo gyobutemu nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...