TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Tukuleetedde obulamu bwa Phillip Kaggwa aleeta abanoonya ku Bukedde TV-Natya nnyo nga omwami wange atandise pulogulamu eyo-Mukyala wa Phillip

Tukuleetedde obulamu bwa Phillip Kaggwa aleeta abanoonya ku Bukedde TV-Natya nnyo nga omwami wange atandise pulogulamu eyo-Mukyala wa Phillip

Added 5th June 2016

Tukuleetedde obulamu bwa Phillip Kaggwa aleeta abanoonya ku Bukedde TV-Natya nnyo nga omwami wange atandise pulogulamu eyo-Mukyala wa Phillip

 Phillip ne Mukyala we Nantongo

Phillip ne Mukyala we Nantongo

ABAMU bamuyita mukoddomi wa Kampala ate abalala kojja, wadde ng’ab’e Kampala balinga abamwefunzizza naye omulimu gw’okugatta abanoonya agukola okwetooloola eggwanga lyonna ng’ayita ku pulogulaamu y’abanoonya ku Bukedde Ttiivi buli Lwamukaaga essaawa 3:30 ez’ekiro.

Wonna w’atuuka owulira, abantu kumuyita Ow’Abanoonya. Mwattu lino linnya eryamutuumibwa abalabi ba Bukedde Ttivvi n’abo b’ayambye okufuna ababeezi. Ono no si mulala wabula ye Phillip Kaggwa era olugendo lwe mu bwannamawulire mw’amaze emyaka 15 alunyumya ati:

Mukyala wa Kaggwa ng'ali mu dduuka lye

 

Nze Phillip Kaggwa Kizannyiro nga mu mawulire nnaakamalamu emyaka 15 ng’okusinga nkola ga mu lupapula olwa Bukedde. Natandika okukola pulogulaamu y’abanoonya ku Bukedde Ttiivi, kati myaka giri ena.

Nnaakagatta abaagalana abasoba mu 150, ku bano kuliko abanjudde n’abakubye embaga abawera. Bano nno bonna munnange baafuuka bannyinaze ne baganda bange era zo enkoko ndiiira ddala anti nafuuka muko!

Abanoonya bo sibatandikidde ku ttiivvi ng’abamu bwe balowooza, nasooka kubakola mu lupapula lwa Bukedde nga ndeeta abaana bawala n’abalenzi abanoonya. Ttivvi bw’etandika natuukirira bakama bange ne mbawa ekirowoozo ky’okukola ekiri mu lupapula ku ttiivvi nga ndaba kijja kuba kyeyongeddeko omutindo.Kino baakikkiriza kwe kutandika pulogulaamu eno.

Kaggwa ng’akuba omukyala ekifaananyi mu kwanjula.

MPASA OKWEWALA EBIKEMO

Ebbanga lye namala nga nkola abanoonya mu lupapula nafuna okusoomoozebwa kungi omuli n’ebikemo gyendi naye nga byonna mbikwasa Mukama. Nagenda okulaba ng’ebikemo byeyongera ko nze, kampase sikulwa ate abanoonya nange bannoonyezaamu era mu August w’omwaka oguwedde kwe kwanjulwa ne ntandika amaka.

MUKYALA WANGE TEYALI MU BANOONYA

Bangi balowooza nti ne munnange namuggya mu banoonya era batera okukimbuuza. Mukyala wange Nantongo namufuna ng’omulala yenna bw’ayinza okufuna omwagalwa we. Teyajja nti anoonya ne mmufunza nga sinnamulaga ku ttiivi.

Omukyala twasooka kuba baamukwano, ηηenda okulaba ng’ebinnyumira naye bimunyumira ate ng’embeera ze zinsanyusa. Yali mukkakkamu era nga bw’ali kati gwe nabuuliranga ekindi ku mutima. Teyali mwangu naye nga bw’omanyi omukwano gwagenda gukula ate nga mmukkiririzaamu naye bwatyo n’ekyavaamu kwe kumusuula eggambo.

Bakaggwa mu biseera byabwe ebyeddembe.

OKUSOOMOZEBWA

Bangi baagala okunoonya naye batya okubateeka ku ttiivvi, kyokka omuntu anoonya bw’alaba munne ku ttiivvi nga naye anoonya kimwanguyira okusalawo. Naye abamu baba baagala kukuwa ssimu obanoonyeze mu kyama ekintu ekitali kyangu.

Kino kiri nnyo mu bikonge bya gavumenti, abakozi ba ofi isi abakola emirimu ng’obusawo, abasomesa, abasuubuzi ab’amaanyi n’abo ababera e Bulaaya. Kino kimpa olumu akaseera akazibu okufuna abantu abajja ku pulogulaamu nga banoonya, sso bo abalabi baba baagala kubaleetera bantu bapya buli Lwamukaaga.

Olumu olagaana n’omuntu n’akkiriza kyokka olumutuukako n’oggyayo kkamera, ate n’akyusa ebirowoozo. Abamu bakiraba ng’ekivve okulabika ku ttiivvi ng’anoonya era abamu abanoonya nga si bamalirivu bw’ayogerako n’omuntu omulala ebiseera bingi amuteekamu endowooza ya ‘ojja kuswala’ ne bakyusa ebirowoozo!

Abamu bwe bafuna ate tebaagalira ddala, kuddamu kulabika ku ttiivvi, sso ababa bafunye bw’oddamu n’obalaga kizzaamu amaanyi abo ababa tebannafuna oba abaagala okunoonya nti wamma kisoboka okunoonya omwagalwa n’omufuna. Okugeza waliwo okwanjula okwali e Ssembabule, omukazi ye yajja anoonya era n’afuna, bampita ku mukolo gwabwe era nga basanyufu. Naye bwe natuuka ku mukolo omwami yagaana okulabika ku ttiivvi wadde ng’omukyala ye teyakirinaako buzibu bwonna”.

TWALI TULOWOOZA AJJA KUBA FAAZA - BAZADDE

Nnyina, Margaret Nabisubi Kaggwa, maama wa Phillip agamba: Phillip okuva obuto nga mukwatampola, muwulize era awaka nga teyeeganya mirimu. Nzijukira ekiseera kye namala nga kitange mulwadde saaliwo awaka, naye Phillip yafumbira banne nga taliimu malala g’abaana abalenzi ago agataagala kukola mirimu waka.

Bakadde ba Phillip omwami n’omukyala Kaggwa.

 Mu busirise bwa Phillip kisa kya Mukama okuba nga yawasa omukazi, kuba nze ng’omuzadde nali nneeraliikiridde nga ηηamba nti obusirise buno bwandimulemesa okuwasa. Ggwe ate ssebo nga tolina lw’owulira nti waliwo akawala konna akamubuuza oba nti waliwo ke bamulabyeko nako nti atambula nako ku kyalo!

Nali ndowooza nti oba omwana anaagenda mu bufaaza anti nga siwulirayo kanyego! Lwe yaηηamba nti afunye omukyala nasigala nneebuuza oba kituufu okutuusa lwe yamundaga. Ate kitaawe, Aloysius Kaggwa Ssempala agamba: Kaggwa yayagala nnyo okusoma, era ng’awaka y’akubiriza banne okuzuukuka okusoma.

Bwe ndaba pulogulaamu y’Abanoonya nasooka kulowooza byabulimba, kuba nali nnebuuza oba abawala abo y’abanoonya na ngeri ki oba be bamunoonya kuba embeera ze nga si ye muntu gw’osuubira nti ayinza n’okuyimirira mu kkamera.

OMUKYALA BY’AGAMBA DOREEN NANTONGO

muka Kaggwa agamba: Phillip twasooka kuba baamukwano era lwe yasooka okunsonseka obugambo saakikkiriza nti y’ayogera ne mmwesamba. Bwe yandaga nti ky’aliko akitegeeza ate nga mmulabamu omulamwa kwe kukkiriza ne tutandika okubeera ffembi okutuusa lwe namututte mu bakadde omwaka oguwedde mu butongole.

Mukama mu bbanga lye twakamala ffembi atuweereddemu ezzadde lya baana bataano. Mu kutandika okukola pulogulaamu y’Abanoonya, saakisiima kuba nalaba nga biswaza oku-leeta abantu nti banoonya ate ng’omwami wange y’agikola nalaba nga nedda.

Mu kkubo ng’abantu banjogerako nti, ‘Wuuyo muk’oli omusajja akola Abanoonya’ ate ekyasinga okunnyiiza ng’oyinza okubeera mu takisi n’owulira omuntu ng’ayogera nti, ‘bannange be yaleese leero, oba asooka kubaagala!’

. Naye bino natuuka ekiseera ne mbimanyiira. Bwe yantegeezaako nti agenda kukola pulogulaamu eyo namubuuza nti ggwe omuntu omusirise ate ayogera empola ebyo obisobola?

’ Naye ate mu kwogera kuno empola weesanga nga pulogulaamu agifuula ey’ekitiibwa. Ate mwattu bo abaana awaka bwe bamulaba ku ttiivvi basanyuka busanyusi. Tomulaba nti muntu musirise ne bw’omunyiiza awaka olumu ayinza okusirika n’akola ebibye oba okutambula n’agenda n’akomawo nga wayise ekiseera ng’obusungu bumuweddeko.

Eky’abakyala b’aleeta ku pulogulaamu, sikirowoozangako nti baze abaganza, ate mu kusooka nali ndowooza apanga bipange naye munnange bamukubira essimu nga banoonya ne balagaana okusisinkana okubakwata ku ttiivi.

KAGGWA Y’ANI?

Nzaalibwa omwami Aloysius Ssempala Kaggwa n’omuky. Margaret Nabisubi Kaggwa ab’e Kanyanya-Komamboga Zooni mu munisipaali y’e Kawempe mu Kampala. Mbeera Mpereerwe, ndi musajja mufumbo, mukyala wange ye Doreen Nantongo era tulina n’abaana.

Nkoze omulimu gw’amawulire okumala emyaka 15, nga gyonna ngimaze mpandiika mawulire mu lupapula lwa Bukedde okutuusa lwe natandika okukolera Bukedde Ttiivi mu 2011. Ekikulu kye nakwata era kwe ntambuliza amaka gange, kwe kumanya mukyala wange ky’ayagala ne ky’atayagala ate nange n’amanya kye njagala ne kye ssaagala ebirala byonna byekola.

 

ABRAHAM SSEMAKULA ono muzibe ow’e Mukono: Nafuna abantu ab’enjawulo okunnoonyeza omukazi ne bandyako ensimbi nga tewali ke bakolawo. Nafunako abakyala babiri ab’enjawulo naye nga bannimba eby’okwanjula kuba natuuza ne ku nkiiko n’okugula ebintu wabula ne beekuba ku ssaawa envannyuma nga beekwasa bazadde baabwe okugaana omusajja muzibe.

Mu bulumi obwo bwe nayitamu, nasalawo okujja ku Bukedde Ttiivvi, era nafuna kabiite. Kyansanyusa bwe nafuna omukazi omumalirivu era anjagala. Twayanjula e Ssembabule nga December 04, 2013, ate embaga yaliwo December 07, 2013 ku kkanisa ya Gaba Community Church. Twazaala omwana ne tumutuuma Bukedde kuba byali bibala bya Bukedde. Ye omukyala

MIRIAM SSEMAKULA

agamba: Baze okuba muzibe tekitegeeza nti si muntu, kuba mu maaso ga Katonda ffenna twenkanankana kale sikifunamu buzibu naye. Mmuyamba we kyetaagisizza okulaba nga tutambuza bulungi obufumbo bwaffe.

 

MARIAM KISAKYE omutuuze w’e Nabuti-Mukono yafuna omwami we Elijah Kawooya ng’ayita mu pulogulaamu y’Abanoonya: Kaggwa mu kusooka nali mmanyi mukambwe, wabula mu kwogera naye yannyanguyira.

Amanyi bwe bakwata n’okwogera n’abantu era oli bw’abasanga alowooza mwagalana. Yatukwasanganya n’omwami wange ng’ayita mu pulogulaamu y’Abanoonya era tuli bulungi, omwana tetunnamufuna naye tulina okukkiriza nti Mukama ajja kumutuwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...