TOP

Maama yadda n'ankwasa Bayibuli gye nali nsuuliridde

Added 5th June 2016

Maama yadda n’ankwasa Bayibuli gye nali nsuuliridde

 Omugenzi Nalumansi ne Edith Naggayi Ssali anyumya nnyina lwe yamukwasa Bayibuli.

Omugenzi Nalumansi ne Edith Naggayi Ssali anyumya nnyina lwe yamukwasa Bayibuli.

“Mwana mwange nkukulizza ku musingi gwa ddiini, tolekangayo okusinza Katonda wo n’osembeza ebya sitaani, k’olikikola ne bwe ndiba magombe ndikomawo.” Ebyo by’ebigambo maama omugenzi Olivia Nalumansi bye yassangako essira buli lwe yambuuliriranga era ndowooza bye byamuwaliriza okudda nga nsuuliridde eddiini.

Edith Naggayi Ssali ow’e Kawempe-Lugoba anyumya ku ngeri eddiini bwe yatabulanga nnyina ng’obutagigoberera guba gwa nnaggomola.

Agamba: Maama yatuzaala abaana basatu, omulenzi omu Charles Jingo nga ye mukulu, nze ne muto waffe Margaret Nalukenge. Yali mukyala mukozi ataalina mulimu gwe yasomerera. Yatunganga engoye, ng’aluka emikeeka, ebibbo mpozzi n’okulima n’afuna ssente ezitulabirira. Buli mulimu gwe yeenyigirangamu nga naffe atukwata ku mukono nga mu kino atuyigiriza okuba abakozi.

Ku kigambo ddiini nga maama tomunyumiza, lyalinga tteeka okusaba ku Ssande, mpozzi n’okusabanga awaka. Nga mmalirizza emisomo, nafuna olubuto kyokka ng’omusajja sinnamutwala waka bamulabe.

Bwe nagenda ne ntegeezaako maama ekyaliwo n’aηηamba nti okuggyako nga nannyini lubuto azze awaka n’akyala. Nga sinnagenda mu bufumbo maama yasooka kuntuuza n’ambuulirira. Yankuutira okwagala abaana b’omusajja nti be balina okunnyamba oba okuyamba abange be nzadde mu bizibu era kye nakola. Kuno yassaako okunsomesa bwe nnina okukwata omusajja nti omusajja ne bw’ayingira matumbibudde tabuuzibwa gy’ava! Nneeyambisa okubuulirirwa kwa maama obufumbo ne bunnyanguyira.

Wadde nga nasangamu abaana abataali bange nabalaga omukwano ne banjagala ne gye buli eno, nnyaabwe tussa kimu wadde kitaabwe yafa. MAAMA ANTEEKATEEKA Nze ne bannange maama yasinga kututeekateeka okusinga okututegekera ng’abazadde abamu bwe bakola ensangi zino.Yatuyigiriza emirimu okuviira ddala mu buto egy’ebyemikono ekinnyambye mu bufumbo. Okuva lwe nafumbirwa sinoonyangako mirimu, mbadde nkola gyange gya byamikono gye natendekebwa maama. Nduka ebitambaala, emikeeka, ebibbo, okulima era nga maama bwe yakolanga.

OMUKWANO GWANGE NE MAAMA

Okumanya maama yanjagala ne bwe nali mu bufumbo nga tandekerera. Buli mwana wange eyavanga ku mabeere nga maama amunona n’amutwala okubeera naye. Yaηηamba nti ekyamutwazisanga abaana bange baleme kukula nga batibula era buli lw’aba ayagala okundabako n’atunula ku muzzukulu we kimumala.

MAAMA ALWALA Taata yali yafa dda nga tusigazza maama. Yalina obulwadde bpuleesa bwe yafuna nga mukoddomi we eyali amulabirira afudde nga buli kiseera abeera ku bitanda. Yalumizibwa ebbanga lya myaka musanvu naye ng’abaana be teyatusuulirira.

Obulwadde bwe twalaba nga bumunyiikiridde, twamuggya mu kyalo ne muganda wange ne tumuzza okumpi we tubeera. Naye nga ne bw’asula obubi atulaga omukwano n’atugumya. Maama lw’afa nga April 28, 2011, nali wange muto wange eyali amujjanjaba n’ankubira essimu okumbikira. Nawulira nga mpunze kuba nali mbaddeyo mu nnaku bbiri nga namuleka tali bubi nga ne kw’olwo nali nteekateeka kumutwalira ddagala.

Zaali ssaawa 12:00 essimu we yavugira okugikwata ng’ebika. Entegetege zanfamba ne nnemwa okutambula nga muli ndowooza ku mukwano gwa maama nti agenze tansiibuddeeko. Natuuka ku maama nga mu butuufu yakaze dda naye nga sikikkiriza.

OMUKWANO AGUNDAZE NE MU KUFA

Okumanya maama yali mukazi munnaddiini ne bwe yafa yasigala ankuutira okugenda okusaba. Azze andabikira mu birooto eby’enjawulo mu biseera bye mbadde nfuniramu ebizibu ng’aηηamba kimu kwekwata Katonda.

Waliwo lwe namala ssabbiiti nga sigenze ku kkanisa mba nneebase maama yajja ng’ali mu gomesi omwami wange gye yamuwa. Nali ntudde nduka mukeeka, engeri gye yali yamanyiira obutatuuka waka ng’akoma mu muti gwa ovakkeddo ne ku luno bwe yakola.

Nze olwamulengera ne mmwaniriza n’agaana okubaako ky’anziramu naye ng’atunuulidde enkaliriza mu bukambwe. Ky’ava ambuuza nga wayiseewo eddakiika nti, “Olwaleero lwakumeka?” ne mmuddamu nti lwa Ssande. Kwe kumbuuza nti “Wagenze okusaba?” ne mmuddamu nti saagenze.

Yaη− ηamba nti, “Nnina okusaba yakyogera omulundi gumu ne mpawamuka nga nzenna omubiri gummenyese. Natya nnyo era okuva olwo siyosa Ssande. Olumu nalwala ebizimba ne ηηenda mu ddwaaliro abasawo ne bakantema nti nnina okulongoosebwa.

Ebyetaagisa byaliwo naye nga ntidde, nagendayo enfunda bbiri naye ng’oluba okuntuusa mu ssweeta puleesa ng’erinnya. Abasawo bandagira okuddayo nga nzikakkanyizza ebirowoozo naye mu kiro nga ntegese okuddayo enkeera maama yajja.

Mu kirooto nali ntudde ku lubalaza nga ndi mweraliikirivu. Ku luno teyakoma mu muti gwa ovakkedo yansemberera n’ankwata ku kibegabega ate n’anta. Yantuma Bayibuli ne ngireeta n’agibikkula n’abaako ebigambo bye yasoma ng’ankutte ku mutwe lwakuba bino sibijjukira.

Bwe yamala n’aginkwasa n’ankuutira okugifuula mukwano gwange nti Katonda waakunnyamba lubeerera. Olwamaliriza ebyo n’abula. Ku luno saawawamuka wabula bwe nakeera ku makya amaaso gaggukira ku Bayibuli, bwe nali sinnagenda mu ddwaaliro gye nasooka okukwata ne nsaba ne ηηenda.

Ku luno saafuna buzibu bwa puleesa kulinnya. Abasawo bannongoosa ne nzira engulu nga sifunye buzibu bwonna era okuva kw’olwo nayiga buli lwe mbaako n’ekizibu nkwata mangu Bayibuli.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...