
sigala n'emafuta biteereddwako omusolo omukakali
MINISITA Kasaija, bwe yabadde ayanjula bajeti y'eggwanga, yategeezezza nti ettundutundu erisinga obunene ery'ensimbi gavumenti z'egenda okusaasaanya mu mwaka 2016/17, zigenda kukuηηaanyizibwa mu misolo.
Ku nsimbi obuwumbi 26,361 eza Bajeti empya, Minisita Kasaija yagambye nti obuwumbi 12,914 n'obukadde 300 zigenda kukuη− ηaanyizibwa kitongole kya musolo ekya URA. Ensimbi eziva mu misolo zeeyongedde okuva ku buwumbi 11,598 ezaabalirirwa okukuηηaanyizibwa mu mwaka 2015/16 , okutuuka ku buwumbi 12,914 n'obukadde 300 ezisuulirwa okukuηηaanyizibwa mu bajeti empya.
Kino kitegeeza nti omuntu wa bulijjo alina kwesiba bbiri anywere kubanga emisolo gino, gavumenti egisuubira kugikamula mu bo wakati mu mbeera y'ebyenfuna ey'okuluma obujiji.
EMISOLO EMIPYA Omusolo ku Petulooli ne Dizero gulinnye Minisita Kasaija yalangiridde nti omusolo ku mafuta aga Petulooli ne Dizero gavumenti egwongezzaamu 100/- ku buli liita.
Kino kitegeeza nti buli liita ya Petulooli gavumenti egenda kugisoloozaako 1,100 mu mwaka 2016/17 okuva ku 1,000/- z'ebadde emusoloozaako mu 2015/16. Ku mafuta ga Dizero, gavumenti egenda kusolooza 780/- buli liita mu mwaka 2016/17 mu kifo kya 680/- z'ebadde esolooza ku buli liita mu 2015/16.
Kino kitegeeza nti ssinga ogula ettaka lya bukadde 10, okukyusa ekyapa okubadde kusasulirwa 100,000/- kati mu Bajeti empya 'Stamp Duty' ya kubeera ku 150,000/-. Emisolo ku migaati n’ebiwoomerera: Mu bajeti eno, gavumenti eyongezza omusolo ku migaati, keeki n'ebiwoomerera ebirala nga swiiti, Chewing gum ne cokoleeti okuva ku bitundu 10 ku 100 okutuuka ku bitundu 20 ku 100.
Mu bajeti eya 2015/16, gavumenti yassaawo omusolo omupya ku migaati, keeki n'ebyokulya ebigwa mu kkowe eryo gwa bitundu 10 ku 100. Omusolo guno gugenda kukosa ebbeeyi y’ebintu bino kubanga ababikola tebajja kwagala musolo guyingira mu magoba gaabwe. Emisolo ku sigala Abanywi ba sigala, bajeti y'omwaka guno egenda kubanyigamu olw'omusolo gavumenti gw'eyongezza. Ku buli minwe 1,000 egya sigala owa 'Soft cap' gavumenti eyongezza omusolo okuva 45,000/- okutuuka ku 50,000.
Ku Sigala ow'ekika ekya 'Hinge Lid' ku buli minwe 1,000, gavumenti eyongezza omusolo okuva ku 75,000/- okutuuka ku 80,000/-. Ate ayitibwa Cigar, Cheroots ne Cigarillos gavumenti emutaddeko omusolo gwa bitundu 200 ku 100 okuva mu bitundu 150 ku buli 100. Ennamba z’emmotoka Minisita Kasaija yalangiridde nti omusolo ku nnamba z'emmotoka okuli amannya g'abantu oba ebigambo nnannyini mmotoka by'ayagala gulinnye ebitundu 200 ku buli 100.
Kati omuntu ayagala ennamba y'emmotoka okuli amannya ge waagugisasulira obukadde 20 okutandiika nga July 1, 2016, nga ssente zino zirinnye okuva ku bukadde 5, ennamba eyo z'ebadde egula. Abakola eby’amasannyalaze g’enjuba basonyiyiddwa VAT Mu kaweefube wa gavumenti okusikiriza abantu okwettanira amakubo amalala ag'ebyamasannyalaze agatali agava mu mabibiro, gavumenti esazeewo obutasolooza musolo gwa VAT ku bakola ebintu ebyamasannyalaze ag'amaanyi g'enjuba (Solar).
Minisita Kasaija yagambye nti okutandika nga July 1, 2016, abantu oba kkampuni ezikola ebintu eby’amasannyalaze ag'enjuba, amasannyalaze ag'empewo, n'amasannyalaze ag'ebbugumu eby'omu ttaka basonyiyiddwa VAT. Omusolo ogwa VAT ogubasonyiyiddwa, Minisita yagambye nti gwe gubadde guggyibwa ku bintu bye bakozesa mu bizinensi ez'okukola eby'amasannyalaze ago. Abagatta bizinensi ezitakola balidde: Gavumenti esuulidde tawulo, abasuubizi ne bannamakolero abalina bizinensi ezitakola magoba. Minisita Kasaija yalangiridde nti omuntu yenna asalawo okugatta bizinensi ezitakola magoba oba okugula bizinensi ebadde tekola magoba, gavumenti ejja kumusonyiwa emisolo okusobozesa bizinensi eyo okuda engulu. Yagambye nti kino gavumenti ekikoze ku lw'obulungi bw’ebyenfuna by'eggwanga n'okwanguyiza abaagala n'okugatta bizinensi.