
Muluuta (ku kkono) nga yakakwatibwa.
OMUSAJJA agambibwa okuyiira mukazi we n’omwana asidi e Lugazi n’adduka, bamukwatidde wa mukwano gwe e Mpigi n’agamba nti yakikoze mu busungu oluvannyuma lw’omukyala okugaana okumuddira .
Geofrey Muluuta 30, abeera e Geregere, Lugazi ng’abadde mukozi mu kkampuni ya SCOUL, yasangiddwa n’ebisago bya asidi eyamuyiikira mu kyenyi. Olwamukutte n’agamba nti omukazi yamunyiiza kuba obukwakkulizo bwonna bwe yamuteerawo yabutuukiriza kyokka n’agaana okudda awaka naye kwe kusalawo okumwesasuza.
Abatuuze be baatemezza ku poliisi y’e Buwama mu Mpigi oluvannyuma lw’okumwekengera ng’ate n’abamu baabadde bawuliddeko nti gye yavudde aliko ebikolobero bye yakoze. Muluuta olwalabye poliisi yagezezzaako okudduka kyokka n’emukwata. “ Mukazi wange Phiona Nabumba nnali mwagala n’omwana Vanesse Namuswe, era bwe yanoba ne mpulira bubi. Ekyasinga okummalako amagezi kwe kuwulira nti yafunye omusajja omulala mu wooteeri gy’akolera nange kwe kugendayo muwooyewooye akomewo.
Twakkaanya nti ebyasoba tubiveeko nakkiriza okudda kyokka oluvannyuma n’anneefuulira n’agaana okudda,” bwe yategeezezza. Yasoose kugaana nti si ye yamuyiiridde asidi kyokka oluvannyuma n’agamba nti yawulidde ebintu ebiyiika ne yeekanga n’adduka era abantu bwe baamugobye ne yeekweka ewa mukwano gwe e Buwama.
Mukwano gwa Nabumba agamba: Yamuliimisa emirundi esatu okutuusa bwe yamukwasizza n’amuyiira asidi eyakwasizza n’omwana. Agamba nti yali tagenderedde kuyiira mwana kyokka maama we ye yali amusitudde n’amukwatiramu.
N’agamba nti Muluuta ebbuba lye lyamusukka. Sse nte zaabatambudde: Muluuta agamba nti omukazi yamusaba 40,000/- okugula ensawo ey’okussaamu engoye ez’okuddizaamu ebintu n’amuwa 30,000/- kyokka ensawo teyagigula era natadda. Baali bakkaanyizza nti bw’akomawo bajja kugenda mu bazadde e Gomba okukyala. Muluuta yasooka kukolera mu faamu emu e Buwama gye yasisinkana Nabumba n’amuwasa