TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katemba mu kukakasa baminisita; Nantaba yaboggoledde Kadaga katono aly'emu amaaso

Katemba mu kukakasa baminisita; Nantaba yaboggoledde Kadaga katono aly'emu amaaso

Added 19th June 2016

Katemba mu kukakasa baminisita; Nantaba yaboggoledde Kadaga katono aly'emu amaaso

KATEMBA, amaziga, okuboggola, okucamuukirira n’okusoberwa byabuutikidde akakiiko ka Palamenti akaateekebwawo okwekebejja abaalondeddwa ku bwaminisita.

Akakiiko kano akakubirizibwa Sipiika Rebecca Kadaga katuulako abantu 22, nga bava mu bibiina byobufuzi byonna ebikiikirirwa mu Palamenti n’ababaka abatalina bibiina.

Akakiiko kaasisinkanye abaaweereddwa obwaminisita okuggyako Gen. Moses Ali (omumyuka wa Katikkiro asooka) eyabadde omulwadde ne Okello Oryem (omubeezi ow’ensonga z’ebweru) eyabadde ebweru w’eggwanga.

Ababaka baagaanye abantu basatu olw’obutabeera na buyigirize bumala okuli; Adrian Tibaleka, Ismael Orot ne Harriet Ntabazi, kyokka waliwo n’abalala bana abaayise ku lugwanyu. Ensonda okuva mu kakiiko zaalambuludde engeri baminisita ab’enjawulo gye baatuuyanidde mu kakiiko nga babasoya ebibuuzo ebyatuusizza n’abamu okunaaza ku mmunye

. HAJI ABDUL NADDULI (minisita atalina mulimu gwa nkalakkalira): Ono bwe yatuuse mu kakiiko yakalambululidde engeri gy’akolereddemu emirembe mu Uganda okuviira ddala mu nsiko mu myaka gya 1980. Yategeezezza nti omulimu gwe gwa kukunga bantu, ekintu ky’aludde ng’akola ku leediyo, ttivvi ne mikutu gy’amawulire emirala.

Yasabye ababaka bamukakase kuba akoleredde nnyo ekintu, nga yeetaaga okusasulwa, era nga n’obuyigirize yabadde abulina. Ababaka bonna okuli n’abava ku ludda oluvuganya Gavumenti baamukwatiddwa ekisa ne bagamba nti Haji agende alye ku bintu ne bamuyisa.

JANAT KATAHA MUSEVENI (minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo):

Ababaka baamubuuzizza engeri gy’agenda okukwanaganyaamu emirimu gya muk’omukulembeze w’eggwanga ate afi sseewo obudde obutuuka okulambula kaabuyonjo mu masomero. Yabategeezezza nti agenda kukola n’abalala, n’ategeeza nti talina baana bato nti beetaaga okulabirira buli kiseera nti banaamulemesa okutambula.

Baamutegeezezza nga bwe bali abeeraliikirivu kuba alina abaserikale abasusse nga kiyinza okutangira abamwagala okumutuukako. Kyokka baasazeewo okumuyisa kuba baakirabye nga kyandiyamba minisitule okufuna ssente, kuba ajja kuperereza Pulezidenti okugiwa ssente. FLORENCE NAKIWALA KIYINGI (Minisita w’abaana n’abavubuka):

Ono ye yasinze okucamula akakiiko kuba yabadde alabika nga yasanyuse nnyo okumuwa obwaminisita. Yategeezezza nga bw’akyali mu DP kyokka nga kino tekimugaana kuweereza ggwanga. Yasuubizza ensi n’eggulu bwe yasuubizza okumalawo ekizibu ky’ebbula ly’emirimu mu bavubuka n’okuwa ssente obukiiko bw’abavubuka mu byalo bakole emirimu.

Yagambye nti kino abadde akikola nga minisita w’e Mmengo. Kyokka baamutadde ku nninga, kuba yabadde alabika ng’ayinza okubeera omusosoze mu mawanga n’asembeza aba Buganda bokka. Kyokka yeewolerezza nti obuvunaanyizibwa abadde yafuna bwa Buganda, kyokka ke bamuwadde obwa Uganda bwonna talina kitundu ky’ajja kujuza.

BETTY KAMYA (Minisita wa Kampala): Yategeezezza nga bw’akyali mu kibiina kye ekya Uganda Federal Alliance, nga tewali tteeka limutangira kuweereza Gavumenti. Yabuuziddwa engeri gy’agenda okumalawo obutakwatagana wakati wa Nankulu w’ekibuga Jennifer Musisi ne Loodi Meeya Erias Lukwago. Yategeezezza nti Lukwago ne Musisi balwanye ekimala nga mu kiseera kino bo bennyini bakooye entalo, baagala kukola.

Yagambye nti ye muntu omutuufu okubabeera mu makkati kuba aludde nnyo mu kibuga era akimanyi nnyo.

AIDAH NANTABA (Wa byampuliziganya ne tekinologiya) . Ono yatabukidde mu kakiiko n'ava mu mbeera n'ababoggolera ng'ababuuza gye baabadde batutte ebiwandiiko bye.

Kyaddiridde Sipiika okuwa kalaani wa Palamenti ayokese mu mpapula z'obuyigirize bwa Nantaba. Kino kyaggye Nantaba mu mbeera n'abategeeza bamubuulire gye batutte empapula ze!

WILLIAM BYARUHANGA (Ssaabawolereza wa Gavumenti):

Ababaka baamukunyizza ababuulire engeri gy’agenda okuwolerezaamu Gavumenti nga takolerangako wadde mu kitongole kya Gavumenti kyonna. Ono obulamu bwe abadde awoza emisango mu kkampuni ye, kyokka baasobodde okumukakasa kuba tewali tteeka lyabadde limukwata.

LT. GEN. HENRY TUMUKUNDE (Minisita w’obutebenkevu bw’eggwanga): Ono owa FDC, Francis Mwijukye ye yasinze okumuteeka ku nninga engeri gy’agenda okukolamu emirimu ate ng’abadde n’emisango gy’obusiiwuufu bw’empisa mu magye. Tumukunde yategeezezza nti emisango yagyejjeerera bwe gyamuggyibwako n’alabulwa bulabulwa.

Kyokka bwe baamwetegerezza nga munnamateeka alina obumanyirivu mu byokwerinda ne bakiraba ng’ajja kusobola.

HARRIET NTABAZI (Minisita omubeezi ow’amakolero): Ono yaliko omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Bundibugyo, kyokka n’awangulwa mu kulonda kwa 2011. Ono empapula ze ez’obuyigirize zaabadde tezikwatagana.

Bwe yaleese ebbaluwa okuli ebimukwatako teyataddeko buyigirize. Bwe baamukunyizza ennyo ku by’obuyigirize yatulise n’akaaba n’asaba ababaka bamuleke kuba yabadde ajja kubaweereza bulungi. “Bannange temunnyima mulimu, mundeke mpeereze!”, bwatyo bwe yalaajanye ng’amaziga gamuyitamu. Kyokka ababaka baasazeewo ne bamugoba.

ADRIAN TIBALEKA (Minisita w’abaliko obulemu n’abakadde): Ono yagobeddwa kuba yabadde tasobola wadde okwennyonnyolako mu Lungereza. Yabadde talina buyigirize era ekyasinze okwewuunyisa kwe kubeera nga yalemeddwa okunnyonnyola abaliko obulemu be b’ani! Yabadde talina tteeka lyonna likwata ku baana wadde abaliko obulemu ly’amanyi. Ababaka baamugobye nga balaba tajja kusobola.

Tibaleka tabeerangako mubyabufuzi butereevu kyokka nga musuubuzi era kakuyege wa Pulezidenti wa lulango. Kyategeezeddwa nti aludde ng’apeeka Pulezidenti amuwe obwaminisita kye yakoze, kyokka akalippo ne kamukwatirayo.

ISMAEL OROT (Minisita w’ebyemirimu era omubaka wa Kanyum County mu disitulikiti ye Kumi): Ebiwandiiko byamuleetedde obuzibu, era kyazuuliddwa nti yandiba ng’akozesa biwandiiko bya muganda we.

Ebiwandiiko bye yakozesa ebya UNEB tebikwatagana mannya ne bye yatwala okukakasibwa mu kakiiko akeekenneenya ebyenjigiriza ebya waggulu. Bwe yali akuba ekirayiro era yalayimirira mu mannya malala. Ono baamugobye.

RUTH ACHENG (Minisita omubeezi ow’ebyobuvubi): Ono ababaka ba NRM okuva mu Acholi be baasinze okumulwanyisa nga bagamba nti tebayinza kukkiriza Pulezidenti kulonda baminisita ba UPC babiri. Baagambye Pulezidenti nti waakiri alonde Betty Amongi yekka, Aceng amusuule. Bano baakulembeddwa Sam Engola (ssentebe wa NRM mu kitundu ky’omu mambuka). Yagambye nti yasuulibwa olw’okuba yawangulwa, nga tewali ngeri ba UPC gye beeyagalira mu Gavumenti gy’akoleredde.

Pulezidenti yawandiikidde Sipiika ng’amugamba aleke kukakasa Aceng okutuusa lw’anaalonda omuntu omulala bamukakase.

BAMINISITA ABAANYWEDDE MU BALALA AKENDO

Waliwo baminisita abaasinze okukola obulungi nga baabadde n’obuyigirize obutegeerekeka era n’ebibuuzo baabizzeemu bulungi. Baalaze nti obuvunanyizibwa obubaweereddwa babutegeera bulungi. Ku bano kuliko Benna Namugwanya Bugembe, omubeezi owa Kampala; Irene Muloni, ow’ebyamasannyalaze n’obugagga obw’omu ttaka wamu ne Mary Kitutu, ow’ebyobutonde bw’ensi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...