
Abavubuka abagambibwa okuletebwa Munyagwa kokkuuma ekibira kye mu katono ye Munyagwa
MUNYAGWA ayiye bavubuka b’obusaale mu kibira kyakaayanira ne NFA ne bagoba abatuuze ababadde balimirayo omuceere ne bawanjagira poliisi ye Mpigi ebayambe ku bavubuka ba munyagwa ababakuba ne babawambako n'ebintu byabwe.
Omubaka wa Kawempe South Mubarak Munyagwa amanyiddwa nga Mugaati gwa Bata ayiye abavubuka abakubi b'emiggo n’obusaale mu kibira kya Luwafu Forest Reserve kyakayanira ne NFA ekisangibwa ku bizinga bye Bunjako mu gombolola ye Buwama mu Mpigi ne bagobayo abatuuze bonna ababadde balimirayo nebawanjagira poliisi ebayambe kuba webalima babadde baapangisawo bebibira aba NFA.
Abavubuka bano abeffujjo abakulembeddwamu akola nga maneja wa Munyagwa bakubye enkambi mu kibira kino era nga bakeera kukitalaaga kibira nga nebwebasangamu akyabamu enku bamugoba nebawamba byabadde nabyo era tebakyakkiriza muntu kusalimbirayo wadde nga abatuuze abasinga babadde balimirayo emmere ne yiika z’omuceere eziwerako ekibawaliriza okwekubira enduulu eri poliisi ye Mpigi kuba ekibira babadde baakipangisa ssente ku bakuumi baakye aba NFA.
Ekibira kino kikaayanirwa Munyagwa nabekingole kyebibira ekya NFA nga Munyagwa agamba nti yakugula yiika 50 era nebiwandiiko abirina wabula nga aba NFA bakyalemeddeko nga bagamba nti kino kibira kya gavumenti nti Munyagwa yakifuna mu Bukyamu.
DPC wa Mpigi Ahmed Kimera Sseguya agenze mu kibira nasisinkana abatuuze ababadde balimira mu kibira kino nebamutegeeza nga bwebatakyalya kuba abasajja ba Munyagwa tebakyabakkiriza kulinnya mu nnimiro zaabwe era naasaba Charles Mutaasa (menejja wa Munyagwa) okuteesa nabatuuze babawe ebanga lyokujjamu ebintu byabwe wabula nagamba nti NFA ekyalemeddwa okureeta ekyapa kyettaka lino ngte Munyagwa yabireeta dda era nti mu kiseera kino yenannyini ttaka kuba yeyakalaga ebiwandiiko byawo.
Ssentebe wekyalo kye Bugoma ewasangibwa etteka lyer kibira erikayaanirwa Paul Byekwaso asabye Munyagwa ateekewo akakiiko kabantu abaddukanya ekibira abanateesa anabatuuze baleke kubagobaganya ngate balinamu ebyabwe.
Manejja wa Munyagwa Mutaasa agambye nti Siraaje eyeyita owa NFA yeyafera abatuuze nabaggyako ssente zaabwe nti abapangisa mu kibira kya gavumenti ngate tamanyi nananyinikyo era nabawa amagezi okumunoonya bamukwate aseseme ssente zaabwe.