TOP

Eyakwatidde mukyala we mu bwenzi asangiddwa nga mufu!

Added 2nd July 2016

Eyakwatidde mukyala we mu bwenzi asangiddwa nga mufu!

 Okello nga bwabadde afaanana nga tannafa

Okello nga bwabadde afaanana nga tannafa

ENTIISA ebutikidde abatuuze be Kasokoso kireka D mu division ye Namugongo  Kira municipality, Ssemaka Richard Okello35 bwakutte mukyala we Susan Enwangu n’omusiguze, n'amuggalira mu kisenge, ye nadda mu ddiiro neyetugira mu ddirisa.  

Scovia Nakate omu ku baliraanwa abadduukiridde, agamba nti yasoose kuwulira luyombo nga Okello alangira Enwangu obwenzi ekiro era ng’amugamba agende ne gwabadde naye.

Nzesayagadde kuyingira mu ntalo z'abafumbo kubanga ne mukitundu babadde bakyali bagenyi ne mbaleka okutuusa bwebakakkanye naye tugenze okuwulira kumakya nga batugamba nti omusajja afudde!  

Mukyala w'okello agambibwa okutwatibwa mu bwenzi ng'atwaliba ku poliisi

Suzan Enwangu eyavuddeko akabasa olubuuziddwa agambye nti  baafunyemu obutakkaanya ekiro, omusajja we Okello namukwata namuggalira mu kisenge n’ekkufulu, wabula ye nadda mu ddiiro era teyaguddewo luggyi  nalowooza nti agenze kwebaka mu ddiiro nga bwatera okukola.

Buli lwetufuna obutakkaanya abadde asulanga mu ddiiro naye nga tamala kunsibirayo nga leero bweyakoze.

Obudde bwebukedde kumakya, nkanze kuyita anzigulire nga teri kanyego, kwekuggulawo eddirisa ly’ekisenge nendaba omuwala abadde ayitawo, ne mmuwa ebisimuluzo aggulewo ennyumba ajje mu kisenge anzigulire,naye olubadde okuggulawo mu ddiiro, mpulidde akuba nduulu nti omuntu yeetuze naye nga sirina wempita kufuluma, okutuusa poliisi lwezzenenzigulira.

Okuva mu mwaka gwa 2013 nga naakafumbirwa Okello,  azze yegezaamu okwetuga buli lwabafuna obutakkaanya era affundikidde akikoze era yakubira ne muganda wange essimu n'amugamba nti balabirira bulungi abaana be kubanga essaawa yonna agenda kufa.

Abatuuze nga basobeddwa oluvannyuma lw'okusanga omulambo gwa mutuuze munnaabwe Okello ng'afudde

Lydia Kasule landiloodi wa Okello waabadde asula, agamba babadde bapangisabapya ku nnyumba ze nga bajja ku ssande eyaggwa, era bampa ebbaluwa nga baaviira mu bitundu bye Kawanda.

 Ate Asha Nakiwala muliranwa agamba nti baagenze bonna mu bbaala e Kasokoso mu katawuni okunywa omwenge era baakomyewo ku ssaawamusanvu bombi nga balerengana.  

Poliisi y’e Kireka ezze nekwata Enwangu nemutwala ku poliisi akole sitatimenti, era netwala omulambo gwa Okello e Mulago okwekebejjebwa , nga jaanajjibwa atwalibwe e Soroti okuziikibwa. Ensonga ze ziguddwawo ku ffayiro nnamba SD 05/01/07/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...