TOP

Eyabula ku famire ye asangiddwa nga mufu

Added 3rd July 2016

Eyabula ku famire ye asangiddwa nga mufu

 Starnly Nsubuga eyafiiridde mu nnyumba e Bukoto

Starnly Nsubuga eyafiiridde mu nnyumba e Bukoto

ABATUUZE  b'e Bukoto mu zooni ya Kalonda   baguddemu ekyekango bwebasanze mutuuze  mu nnaabwe gwebabadde  bamaze ennaku nga banoonya ngayafiridde mu nnyumba  ye.

Omutuuze ono amanyiddwa nga Stanley Nsubuga   30 ng'abadde   aludde   nga batuuze bamunoonya  kyokka    batuuze  baguddewo ekigwo bwebasanze  omulambo gwe mu nnyumba   nga  gutandise  nokuwunya.

Sylvia Naiga   maama  womugenzi yategeezezza nga mutabani we  bwebabadde bamunoonya   oluvannyuma lwokulemererwa  okumuzuula  era  n'ategeeza  nti babadde batekateeka  kugenda  ku leediyo kutekaayo birango.

Yagambye  nti   bweyabadde  atudde okumpi  n'omuzigo omusula mu tabani  we ono   kwekuwulira  ekivundu  era  wano weyayitidde batuuze banne  ne bamenya  olujji  kyokka  ne basanga nga   Nsubuga  yafiramu.

SSentebe  we  kyalo kino  yategeezeza  nti   omuvubuka ono abadde anywako ku mwenge  kyokka  nategeeza  nti abadde  amaze  ebbanga nga talabika   era nategeeza  nti  tebamanyi kyamuviriddeko kufa.

Poliisi ye   Kira  road  yasobodde okutuukako mu kifo kino n'esobola  okwekebejja omulambo guno  era  oluvannyuma  yagutisse ku kabangali ne gutwala mu ddwaliro e Mulago okusobola okugwekebeja  basobole okuzuula  ekyaviriddeko omuvubuka ono okufa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...