TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Omusajja Poliisi gwerumiriza okukola akabenje akaatugumbula abantu e Kampiringisa yeetutte ku Poliisi

Omusajja Poliisi gwerumiriza okukola akabenje akaatugumbula abantu e Kampiringisa yeetutte ku Poliisi

Added 7th July 2016

Omusajja Poliisi gwerumiriza okukola akabenje akaatugumbula abantu e Kampiringisa yeetutte ku Poliisi

 Muyanja ng'ali ku Poliisi ya CPS

Muyanja ng'ali ku Poliisi ya CPS

OMUSAJJA eyalabikidde mu kifaananyi poliisi kyeyafulumizza avuddeyo ne yeetwala ku CPS mu Kampala n'ategeeza nga ye bwatabadde dereeva wa mmotaka y’ekika kya Noah eyakoze akabenje akatuze abantu 21 e Kampiringisa ku Lwomukaaga.

Derick Muyanja akolera e Katwe ku Muganzirwazza  yagambye nti yalimu mu mmotoka y’ekika kya Noah  namba UAS 576C ne banne abalala musanvu nga bava okuziikirako munnaabwe Yuda eyali afiiriddwa maama we wabula nga siyeyali dereeva.

“Nasazeewo okwereeta ku poliisi ngitegeeze nti sinze eyali avuga mmotoka eyavaako akabenje  nange bali banvuga  wabula nag eyali avuga mu manyiiko limu erya Richard era oluvannyuma lwa kabenje kano yeyabula simanyi gyali” Muyanja  bwe yategezezza ng’ayetutte ku CPS .

Yagambye nti bwe baali bakomawo dereeva yali avuga endiima essukiridde ennyo  era nga bagezaako okumugambako wabula nga tabawuliriza ekyavaamu okutomera tuleera eyavaako   mmotoka endala eza takisi abantu ne bafa.

Yategeezezza nti ekifaananyi poliisi kyeyafulumizza takyegaana nga  bakimukubira mu kifo w’enyinyi awagwa akabenje wabula nga mu kiseera ekyo yali anoonya wayinza okufuna obujanjabi  ate nga eyali abavuga mu mmotoka nga tamanyiiko mayitire.

Yagambye nti  olwalabye ekifaananyi kye mu mawulire kwekuvaayo yetwale ku poliisi aginyonnyole kituufu kuba yalagiddwa nga ye dereeva eyakola akabenje .

Olwatuuse ku CPS yagenze mu ofiisi y’akulira ekitongole ky’ebidduka mu poliisi Dr. Steven Kasiima  n'amukwasa akulira ebidduka mu Kampala n’emirirwano Norman Musinga n'abaako byamubuuza ku kaabenje akaliwo.

Wabula Dr. Kasiima yagambye Muyanja bakyamukuumira mu kaduukulu ka CPS nga baliko ebintu by’ebamubuuza  nga bwe banoonya ne Richard gwagamba nti yeyali dereeva oluvanyuma lw’okufuna nnamba ye ey'essimu nga bagenda ku ginoonyerezaako  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.