TOP

Nambooze alongooseddwa e South Afrika

Added 9th July 2016

Nambooze alongooseddwa e South Afrika

 Nambooze

Nambooze

OMUBAKA wa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke yalongooseddwa ekyenda mu ddwaaliro e South Afrika gye yatwalibwa ng’alumizibwa mu lubuto.

Joseph Sewungu Gonzaga, nampala wa DP mu palamenti yakakasizza amawulire g’okulongoosebwa kwa Nambooze n’akakasa nga bwe yabadde awuliziganyizza ne bba n’amutegeeza ng’omubaka bwe yabadde ajja okuba obulungi oluvannyuma lw’okulongoosebwa ku Lwokutaano.

Ku ky’obulwadde obuluma Nambooze, Sewungu yagambye nti buli mu lubuto nga bw’ali butuusizza ekyenda okutandika okuvunda. Sewungu yagambye nti ssente z’okutambuza Nambooze ne bba awamu n’obujjanjabi bwonna, zaasasuliddwa palamenti.

Kyokka yagaanyi okwogera eddwaaliro mwe baamulongooserezza n’ategeeza nti aba famire ya Nambooze baamusabye obutayasanguza gye bali okwewawala okutataaganyizibwa abagenyi abangi. Nambooze amaze wiiki nnamba e South Afrika gye yatwalibwa ng’ali mu mbeera mbi asobole okufuna obujjanjabi obusingawo.

Mu kiseera kye kimu, ekibiina kya DP kirangiridde nga bwe kigenda okusimbawo Nambooze ku bwassentebe bwa kabondo k’ababaka ba palamenti abava mu Buganda ne bw’anaaba taliiwo. Okulonda kusuubirwa kubeerawo ku Mmande nga July 11, 2016.

Okujja kwa Nambooze kuwezezza omuwendo gw’abantu mukaaga abeegwanyiza obwassentebe w’akabondo k’ababaka abava mu Buganda. Abalala kuliko; Johnson Muyanja Senyonga (Mukono South), John Bosco Lubyayi Seguya (Mawokota South), David Lukyamuzi Kaalwanga (Busujju) Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga) ne James Kakooza ( Kabula).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Micheal Kinene Akomyewo na ...

Micheal Kinene Akomyewo na Nkuba mpya Omuyimbi Micheal Kinene akomyewo na nkuba mpya oluvannyuma lw'okumala...

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...