
Ssaabasumba Dr. Lwanga n'Abaseminaliyo.
SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu ery’e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga awadde Abaseminaliyo 21 emiruka emito, ogw’obusomi n’obuweereza.
Abakubirizza okwaηηanga ebizibu bye basanga, mu buvumu n’okukkiriza, basobole okufuuka abawanguzi. Omukolo gwabadde ku Lutikko e Lubaga, nga bano baavudde mu Seminaliyo ya Alokulum ey'e Gulu, St. Mbaaga e Ggaba ne Katigondo.