TOP

Ababaka batandikiddewo okwosa entuula za Palamenti

Added 10th July 2016

Ababaka batandikiddewo okwosa entuula za Palamenti

 Abamu ku babaka abeetabye mu musomo.

Abamu ku babaka abeetabye mu musomo.

ZIWEZE ennaku 50 bukya Palamenti ey’e 10 etandika okukola mirimu gyayo. Wabula entandikwa tebadde nnyangu kuba waliwo ababaka abatannaba kulinnyako mu Palamenti.

Abamu tebalina ofiisi mwe batuula abalala baatandikiddewo okukola katemba ng’abasinga tebannanyega kigambo kyonna! Palamenti erina ababaka 427, nga 118, baabatutte mu kkooti olw’obutaba na buyigirize bumala, okugulirira abalonzi n’okubba obululu. Ababaka 12, kkooti zaamaze okusazaamu okulondebwa kwabwe.

Ababaka kkooti be yasazizzaamu kuliko; Lilian Nakate (Mukazi/Luweero), Peter Mugema amanyiddwa nga Panadol (Iganga Munisipaali), Peter Sematimba (Busiro South), Isaac Mulindwa Ssozi (Lugazi Munisipaali), Lucy Aciro (Aruu North) Bwino Kyakulaga (Kigulu North), Edward Sembatya (Katikamu South) Hajat Rehema Watongola (Kamuli munisipaali), Annet Nyaketcho (Tororo North), Col Charles Okello Engola (Oyam North) ne Christopher Kalemba (Kakuuto).

Ekibiina kya NRM kye kisinze okufiirwa ababaka, era ng’abakulembeze baakyo bali mu kusala ntotto.

OMUJJUZO GW’ABABAKA: Obuzibu bw’omujjuzo bweyoleka mu lutuula ababaka mwe baayisiza ekiteeso ky’okwongera ku muwendo gwa baminisita n’okukakasa Ruhakana Rugunda ku Bwakatikkiro bwa Uganda.

Ababaka bangi baayimirira mu nkuubo nga Palamenti ejjudde. Sipiika Kadaga yawalirizibwa okusaba akulira oludda oluvuganya Gavumenti okukkiriza aba NRM batuule n’abantu be. Kyokka Betty Nambooze (Mukono Munisipaali), agamba nti omujjuzo nga bateesa si kizibu kuba ababaka bangi tebajja kugenda mu Palamenti nga mu kiseera kino bakyali bangi olw’okuba okuteesa kwakatandika.

Obuzibu buli ku ofiisi ababaka mwe batuula nga kati abamu batuula basatu mu ofiisi emu ng’ate waliwo n’abatannakufuna we batuula. Omubaka Onesmas Twinamatsiko y’omu ku batanna kufuna ofiisi ng’agamba nti abagenyi be abasisinkanira mu nkuubo.

ABABAKA TEBANNAJJUMBIRA: Ababaka abasinga bapya era bazze baweebwa emisomo egy’okumanya enneeyisa n’enkola ya Palamenti. Omusomo ogusembyeyo gwatandise June 20, okutuuka nga June 24, 2016 kyokka ababaka abagwetabyemu baali tebasuka 70. Johnson Muyanja Senyonga (Mukono South) yategeezezza nti ababaka bangi balina emisango mu kkooti nga kirabika kye kibalemesezza okutereera mu Palamenti.

Yagambye nti n’ababaka abakadde tebajja, kuba basuubira nti bye basomesa bye bya bulijjo bye bamanyi. Peter Sematimba (Busiro South) yagambye nti tamanyi kituufu kigaana babaka kujjumbira, kyokka ekiseera ky’amaze akizudde ng’obutasoma kifiiriza.

Yagambye nti yeewuunyizza okukizuula nti bafuna obuyambi obwenkanidde awo, n’asuubiza nga bw’atajja kwosa.

KATEMBA TABUZE MU PALAMENTI Omubaka Betty Nambooze ye yasooka okusesa banne bwe yaleeta erinnya lya Col. Felix Kulaigye akiikirira amagye avuganye ku kifo ky’omumyuka wa sipiika.

Allan Sewanyana (Makindye West) yasaba sipiika agobe omubaka Peter Sematimba mu Palamenti kuba kkooti yali yamusingisa omusango gw’obutaba na buyigirize. Sewanyana era yeeraze ng’omubaka asinze okuwakanya kumpi buli nsonga. Ng’ali wamu n’omubaka Mubarak Munyagwa (Kawempe South) baawanika ebipande ebigamba Pulezidenti ayimbule Besigye, oluvannyuma beekandagga ne bafuluma.

Sewanyana yali omu ku babaka era abaawanika ebipande nga basoma bajeti ng’ayagala Besigye ayimbulwe. Y’omu ku babaka abatono abaawakanya okulondebwa kwa Edward Kiwanuka Sekandi ku bumyuka bwa Pulezidenti, nga ne bwe kyatuuka ku Ruhakana Rugunda era yawanika omukono ng’awakanya okulondebwa kwe.

Kyokka Sewanyana bwe yabuuziddwa ky’ava awakanya buli kimu yategeezezza nti ayagala ensi emutegeere nga ye, so si abangi kye baagala.

ABABAKA BANAATEESA? Palamenti y’omwenda yafiirwa ababaka bangi abaali abateesa ab’olulango, era ng’abatunuulizi eriiso balidde ku y’e 10, okulaba oba eneereeta ababaka envuumulo.

Nga bwe bagamba nti ezinaabala teziranda ggobe, ne mu babaka abapya waliwo aboogedde mu ntuula ebbiri ne mu misomo gye bazze babeeramu ekikulowoozesa nti bayinza okubuguumiriza Palamenti. Abapya abasinga tebannanyega kigambo.

Mu bapya abasinze okwogera mulimu, Jaffa Mbwatekamwa (Kasambya/Mubende), Semakula Luttamaguzi (Nakaseke South), Simeo Nsubuga (Kasanda North), Mary Babirye Kabanda (Mukazi/ Masaka), Peter Sematimba (Busiro South), Dr. Kefa Kamya (Kiboga East).

Abalala kuliko; Noah Mutebi Wanzara (Nakasongola), Robinah Rwakoojo (Gomba West), Morris Kibalya , Patrick Nsamba (Kassanda South), Henry Kamya Makumbi (Mityana South) ne Emmanuel Kigozi Sempala (Makindye Ssabagabo).

Omubaka Kato Lubwama (Lubaga South) nga y’omu ku batannanyega kigambo yategeezezza nti Palamenti y’omulundi guno eyinza obutabeeramu boogezi, kuba buli kye bandibadde bateesa aba NRM babeera baamaze okukiyisa.

ABABAKA BA NRM N’AB’EBIBIINA TEBALI KU MBIRANYE:

Omubaka Luttamaguzi Semakula yagambye nti ekiseera ky’amaze mu Palamenti akizudde ng’ababaka ba NRM tebalina njawulo n’abooludda oluvuganya. Ababaka bano bakwatagana bulungi, ng’embiranye eri mu bannabyabufuzi abali ebweru wa Palamenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...