TOP

Obutalya nguzi kyampeesezza ekifo -Nadduli

Added 10th July 2016

Obutalya nguzi kyampeesezza ekifo -Nadduli

 Haji Nadduli nga baddereeva b’e Luweero bamukwasa kimeeme w’embuzi okumukulisa.

Haji Nadduli nga baddereeva b’e Luweero bamukwasa kimeeme w’embuzi okumukulisa.

MINISITA atalina mulimu gwa nkalakkalira, Haji Abdul Nadduli yeewaanye nti minisitule gye baamukwasizza y’esinga amaanyi kubanga terina nsalo. Ajja kugyeyambisa okulondoola emirimu gya gavumenti omuli enguzi. “Museveni yampadde ekibanja okutali nsalo, ndi kayoole era emmumbwa evumula endwadde ez’enjawulo nga ηηenda kukola ng’ekijinji ekiziba buli kituli,” bwe yagambye.

Yasinzidde mu paaka e Luweero ng’asisinkanye aba takisi n’asekerera abaali bamujerega nti teyasoma ne yeebuuza oba gye yasomesanga yabasomesa mu Luganda.

Yategeezezza nti obwetowaze, obutawalana, amazima n’obutalya nguzi bye bimutuusizza okulabwawo munne Museveni.

Yasabye aba takisi baleme kwemalira mu paaka wabula bakole emirimu emirala. Ssentebe w’aba takisi abeegattira mu kibiina kya Bulemeezi Taxi Operators and Drivers Association, Haji Ali Mutebi yagambye nti baasanyukidde eky’okuwa Nadduli obwaminisita kuba alumirirwa omuntu waabulijjo era atekkusa n’amutonera kimeeme w’embuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...