TOP

Emmere ewa abafumbo essanyu

Added 17th July 2016

Emmere ewa abafumbo essanyu

 Watermeron wamu soya birungi nnyo

Watermeron wamu soya birungi nnyo

OMUSAJJA okutuukiriza obulungi emirimu gy’omu kisenge yeetaaga okuba ng’ebirowoozo n’emmeeme bimuteredde bulungi, ate nga n’omubiri gwe mulamu bulungi. Emirimu gino giyita mu mitendera ena era buli mutendera guyinza okuvaako obuzibu nga mu gino kuliko okwagala, omubiri okwetegeka, okutuuka gy’olaga n’okuwummula.

Okutuukiriza embeera eno omwami alina okuggyawo embeera ereetera obwongo obutaba butebenkevu. Alina okwewala embeera nga zino wammanga: Ennyiike, okweraliikirira n’ebizibu mu bulamu ebisusse.

Okunywa ennyo omwenge, endwadd

 

e z’ensulo y’obukazi, empeke ezigema okuzaala eddagala lya puleesa erimu n’eddagala ly’ensimbu erimu, puleesa okuba wansi, okulya ennyo ebiwoomerera, okuba n’ekirungo kya hormones ekitono n’okuzibikira enseke olw’amasavu.

Ebiseera ebisinga abasajja be batera okutawaanyizibwa ekizibu kino eky’okulemererwa nga batuuse mu by’amaka yadde nga n’abakyala nabo batera okukifuna. Omuntu bw’alya emmere erimu ebirungo ebiyambako okugogola emisuwa ayambibwa kinene mu nsonga z’amaka.

Emmere emu esitula obutoffaali n’omusaayi okutambula obulungi. Okulya ebinyeebwa, bino birimu woyiro ayamba omusaayi okutambula obulungi okutuuka mu buli kanyomero k’omubiri. Katunguluccumu, ovakkedo, ennyaanya, soya ne kaloti biyamba okutereeza embeera y’omubiri ne gutuukiriza eby’omu maka.

Lya ebibala nga emiyembe, amenvu, apo, amapaapaali, entende, bino byongera sitamina eri omusajja n’entabula y’omusaayi. Osobola n’okwettanira ebiryo, entungo, entula, cukkamba, wootameroni okusobozesa omusaayi okutambula obulungi n’omutima okukola mu butuufu bwagwo.

Kendeeza okweraliikirira, funa otulo otumala n’okukola dduyiro okusobozesa amasavu obutakwatira mu misuwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....