TOP

Bakansala baloopye; ekizimbe mwe tuteeseza kivundu

Added 17th July 2016

Bakansala baloopye; ekizimbe mwe tuteeseza kivundu

 Minisita Beti Kamya ng’ayogera eri abakulembeze b’e Kawempe. Ku kkono ye mubaka Ssebaggala ate ku ddyo ye meeya Sserunjogi.

Minisita Beti Kamya ng’ayogera eri abakulembeze b’e Kawempe. Ku kkono ye mubaka Ssebaggala ate ku ddyo ye meeya Sserunjogi.

BAKANSALA abakiikirira emiruka mu Ggombolola y’e Kawempe balombojjedde Minisita wa Kampala omuggya, Beti Namisango Kamya ng’ekizimbe omutuuzibwa enkiiko ne ofi isi ya meeya bwe kigenda okubagwiira kuba kikaddiye.

Kamya ng’ali ne minisita we omubeezi, Penny Namugwanya omubaka wa palamenti Latif Ssebaggala n’omubaka wa Pulezidenti, Hadijah Nabunya baabadde bazze okulambula n’okwebuuza ku bakansala ku ngeri gye batambuzaamu emirimu.

Wabula nga bayita mu munnaabwe Salim Ssemambo akiikirira omuluka gwa Bwaise 11 West, baaloopedde minisita ekizimbe kino okuba mu mbeera embi nga kitonnya era ku nkuba tebatuuza nkiiko ate ku musana ekiwempe kya wansi kiba kivaamu enfuufu kye baagambye nti kyolekedde okubalwaza.

Bakansala era baategeezezza nga bwe baludde nga babuuza ekyatuuka ku kitebe ekipya ekirudde nga kizimbibwa kati emyaka musanvu naye tebafuna kuddibwamu.

Meeeya w’e Kawempe, Emmanuel Sserunjogi yategeezezza ng’obuzibu bwe buva ku bantu abagaba kontulakita nga tebamaze kwebuuza ku bakulembeze ba wansi ab’omu kitundu.

Minisita Kamya yagumizza bakansala nga bw’agenda okwebuuza ku bavunaanyizibwa ku kuzimba ebizimbe bya gavumenti amanye ekyavaako ekizimbe kino okulekera awo okuzimbibwa era n’asuubiza okubawa lipoota mu bwangu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...