TOP
  • Home
  • Aga wano na wali
  • Bannakampala batambudde okujjukiza abantu nti obulwadde bwa Fisitula gyebuli era bukyeriisa nkuuli

Bannakampala batambudde okujjukiza abantu nti obulwadde bwa Fisitula gyebuli era bukyeriisa nkuuli

Added 17th July 2016

Bannakampala batambudde okujjukiza abantu nti obulwadde bwa Fisitula gyebuli era bukyeriisa nkuuli

 Abantu ab'enjawulo omuli n'abayimbi nga batambula

Abantu ab'enjawulo omuli n'abayimbi nga batambula

KAMINSONA weby’obulamu akola ku by’obulwaliro obutono  Jacinto Mandwa alabudde abaana ab’obuwala okwewala ebikolwa by’omukwano nga bakyali bato beetangire obulwadde bw’okutonnya.

 Bino Mandwa abyogeredde ku mukolo gw’okutambula ogwa WAWI Fistula Walk ogw’omulundi ogw’okutaano ogubeerawo buli mwaka okujjukiza abantu obulwadde bw’okutonnya  nti gyebuli nti era bukyabonyaabonya ba Nnakazadde b’eggwanga bangi ogubadde mu kibangirizi kya Centenary Park ku lw’omukaaga mu Kampala.

Omukolo guno gwasoose na kutambula okuva ku kibangirizi kino okwetoloola ekibuga,  mu kwogera kwe, Mandwa agambye nti ensibuko y’obulwadde  buno  businga kuva ku bawala okuzaala nga bakyali mu myaka emito ennyo ssaako abakazi abazaalira okumukumu abaana nga kino kinafuya nnabaana waabwe n’akawago ne kalemererwa okusiba omusulo.

Okutambula kuno kwategekeddwa ab’ekibiina kya Women At Work Internationala (WAWI) ekikulemeberwa  omuyimbi Halima Namakula.

Namakula agamba nti guno mulundi gwa kutaano nga WAWI etambula okujjukiza abantu bonna abali  mu kampala n’abo abalina abantu baabwe abali eyo mu byalo nga batawaanyizibwa obulwadde buno nti gyebuli era bujjanjabibwa.  

Omukolo gwetabiddwaako abantu okuva mu bitongole ebyenjawulo okuli Bank Of Africa abaataddemu ssente, UNFPA, abayimbi ab’enjawulo okwabadde; Catherine Kusaasira, Irene Namatovu, Rema Namakula, amasomero, ab’eddwaaliro ly’e Kitovu ne Mengo n’abalala abasobye mu 6,000.

Wabula omuyimbi Irene Namubiru okutambula kumukanudde naagwa ekigwo banne nebamuwujja okudda engulu wbaula naye akuutidde abakyala okwenyigira mu kulwnayia aobulwdade buno n’okuyamba abo ababulina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...