
Abavunaanibwa okukuba abantu nga bali mu kaguli; Kuliko ‘Crime preventer’ Dan Tandeka (ku kkono), PC Moses Agaba, PC Kenneth Muhangi, Sula Kato ne Willy Kalyango.
WADDE poliisi ekutte era n’esiba abaserikale baayo abaakuba abantu e Najjanankumbi ne ku Kaleerwe Dr. Besigye gye yali ayita, abantu basigadde tebamatidde era muno mwe muvudde n’abasazeewo okutwala abaduumizi mu kkooti. Bataano ku baakubye abantu omwabadde abawagizi ba Besigye n’abalala emiggo, batwaliddwa mu kkooti ya poliisi n’omuntu waabulijjo.
Abaavunaaniddwa kuliko; Bakonsitebo Willy Kalyango nnamba 51748, Sula Kato nnamba 51522, Kenneth Muhangi nnamba 53412, Moses Agaba nnamba 53415 abakolera ku poliisi y’e Katwe n’omu ku bayamba ku poliisi okulwanyisa obumenyi bw’amateeka (crime preventers) Dan Tandeka.
Baavunaaniddwa emisango ebiri; okukozesa amaanyi agasukkiridde ku Mambule Road ne ku luguudo oluva e Busaabala okudda e Najjanankumbi nga July 13 bwe baabakuba emiggo n’okwonoona ekifaananyi kya poliisi.
Ssentebe wa kkooti ya poliisi Denis Odongopinyi yabategeezezza nti baakozesa amaanyi agasukkiridde ne bamenya akawaayiro k’amateeka agafuga poliisi nnamba 24 akatundu (1) mu Ssemateeka wa Uganda akawaayiro 303.
Abalala abatuula ku kkooti eno kuliko Suzan Kasingye ne Herman Owomugisha. Ye konsitebo Robert Wanjara nnamba 46460, akolera ku poliisi ya CPS mu Kampala baamuvunaanye emisango gye gimu gye yaddiza ku Kaleerwe.
BABULIDDWA ABABEEYIMIRIRA
Abawawaabirwa bonna beegaanyi emisango ssentebe wa kkooti n’ategeeza nti ddembe lyabwe okweyimirirwa wabula baabadde tebalina babeeyimirira mu kaseera ako n’alagira bazzibwe mu kkomera nga bwe bakubira bakama baabwe abatwala poliisi gye bakolera babeeyimirire.
Omuwaabi mu musango guno, SSP Catherine Kushemerwa yategeezezza nti yeetaaga okukuhhaanya obujulizi n’asaba omusango bagwongezeeyo okutuusa nga July 25.
AB’EDDEMBE LY’OBUNTU BAGENZE MU KKOOTI
Livingstone Ssewannyana, akulira Foundation For Human Rights Initiative, agambye nti bamaze okubaga empaaba okutwala abaduumizi ba poliisi babiri mu kkooti buli omu bamuvunaane ng’omuntu olw’okutulugunya Bannayuganda nga babakuba emiggo.
Ssewannyana yategeezezza Bukedde nti baanokoddeyo James Ruhweza aduumira poliisi mu Kampala North ne Andrew Kaggwa aduumira poliisi mu Kampala East. Yagambye nti bano bagenda kubavunaanira mu tteeka eritangira n’okuwera okutulugunya abantu erya 2012. Nga bayita mu Bannamateeka ba M/s Rwakafuzi & Co. Advocates bategeka okuteekayo omusango mu kkooti. Ruhweza bamutwala mu kkooti ya Buganda Road ate Kaggwa bamuwawaabire e Makindye.
NNALABA RUHWEZA NG’ADUUMIRA ABASERIKALE BAKUBE ABANTU
Ebirayiro bye baakubye mu kkooti, Harold Kaija amyuka Ssaabawandiisi wa FDC yategeezezza nti, nga July 12, 2016 yalaba Ruhweza ng’aduumira abaserikale ba poliisi ne bakuba abawagizi ba Besigye emiggo ku Kaleerwe bwe baali bagezaako okuwuubira ku Besigye nga bamukulisa ekkomera.
Alumiriza nti wano yalaba abaserikale nga bakuba Karim Ddamba ne John Kyewalabye. Hussein Lubega alumiriza Kaggwa nti nga July 13, 2016 yaduumidde abaserikale ne bakuba abawagizi ba Besigye awo ku luguudo lw’e Salaama Besigye bwe yabadde agenda e Najjanankumbi nga bakozesa emiggo ne waya z’amasannyalaze.
Wano baakubirawo Ronald Muhereza ne Peter Mawejje. Basaba kkooti evunaane ababiri bano kubanga baamenye etteeka mu nnyingo 2(1) (C), 4 ne 7(1). Ssewannyana agamba nti eby’okwekwasa nti bakolera ku biragiro okuva waggulu kkooti yabiggyawo era omuntu asingisiddwa omusango mu tteeka lino, aweebwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 15.
Omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura yasinzidde mu lukuhhaana lw’abaamawulire n’ategeeza nti baabadde balina okukozesa emiggo kubanga baasazeewo okukendeeza okukozesa ttiyaggaasi kubanga ono atwaliramu nnalumanya ne ssaalumanya omuli n’abaana abato.
Munnamateeka Ladislaus Rwakafuzi yategeezezza nti poliisi okubeera ng’eriko abaserikale baayo b’evunaanye tekiyinza kubalemesa kweyongerayo na nsonga kuzitwala mu kkooti z’amateeka.
ABAKULEMBEZE ABAZZE BAVUMIRIRA EBIKOLWA BY’OKUKUBA ABANTU
Omusumba wa Kasana Luweero Paul Ssemwogerere; Yasinzidde Waluleeta ku kiggwa kya Kizito Omuto, n’agamba nti eky’okukuba abantu emiggo kikolwa ekitali kya bugunjufu ekisaana okukoma.
Yagambye nti okulumya abantu kikolwa kikyamu ekisaana okukomezebwa bunnambiro. l Supreme Mufuti Shiekh Siliman Kasule Ndirangwa; Okukuba abantu emiggo ng’abaserikale bakozesa emiyini kikyamu ekisaana buli mukulembeze aveeyo akivumirire.
Tekisaana mu nsi erina demokulasiya nga Uganda, abakulembeze tusaana okusitukiramu okubivumirira ennyo.
Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa yategeezezza nti kyamukwasizza ensonyi ng’alaba abaserikale bakuba abantu emiggo ng’abakuba ente. N’asaba poliisi ennyonnyole ekyabaddewo.
Omubaka Francis Mwijukye (Buhweju) ensonga yazitutte mu palamenti wiiki ewedde n’ateeka Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda, ku nninga. l Akulira akakiiko k’eddembe ly’obuntu Med Kaggwa yategeezezza nti abaakuba abantu bakangavvulwe. N’ababakulira bavunaanibwe - Oweddembe ly’obuntu