TOP

Abadduumidde okukuba abantu nabo batwaliddwa mu kkooti

Added 19th July 2016

Abadduumidde okukuba abantu nabo batwaliddwa mu kkooti

 LIVINGSTONE Ssewannyana akulira Foundation For Humana Rights Initiative ng'anyonnyola Bukedde

LIVINGSTONE Ssewannyana akulira Foundation For Humana Rights Initiative ng'anyonnyola Bukedde

LIVINGSTONE Ssewannyana akulira Foundation For Humana Rights Initiative agambaye nti bamaze okubaga empaaba okutwala abaduumizi ba poliisi mu kkooti babiri buli omu bamuvunaane ng’omuntu olw’okutulugunya Bannayuganda nga babakuba emiggo.

Ssewannyana yategeezezza Bukedde nti baanokoddeyo James Ruhweza aduumira poliisi mu Kampala North ne Andrew Kaggwa aduumira poliisi mu Kampala East.

Yagambye nti bano bagenda kubavunaanira mu tteeka eritangira n’okuwera okutulugunya abantu erya 2012.

Nga bayita mu Bannamateeka ba M/s Rwakafuzi & Co. Advocates bategeka okuteekayo omusango mu kkooti. Ruhweza bamutwala mu kkooti ya Buganda Road ate Kaggwa bamuwawaabire  e Makindye.

Ebirayiro bye bakubye mu kkooti, Harold Kaija amyuka Ssabawandiisi wa FDC yategeezezza nti, nga July 12, 2016 yalaba Ruhweza ng’aduumira abaserikale ba poliisi ne bakuba abawagizi ba Besigye emiggo ku Kalerwe bwe baali bagezaako okuwuubira ku Besigye nga bamukulisa ekkomera. Alumiriza nti wano yalaba abaserikale nga bakuba Karim Ddamba ne Joh Kyewalabye.

Hussein Lubega alumiriza Kaggwa nti July 13, 2016 yaduumidde abaserikale ne bakuba abawagizi ba Besigye awo ku luguudo lw’e Salaama Besigye bwe yabadde agenda e Najjanankumbi nga bakozesa emiggo ne waya z’amasannyalaze. Wano baakubirawo Ronald Muhereza ne Peter Mawejje.

Basaba kkooti evunaane ababiri bano kubanga baamenye etteeka mu nnyingo 2(1) (C), 4 ne 7(1). Ssewannyana agamba nti eby’okwekwasa nti bakolera ku biragiro okuva waggulu kkooti yabiggyawo era omuntu asingisiddwa omusango mu tteeka lino, aweebwa okubonerezo kyakusibwa emya 15.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....