TOP

Abaava e south Sudan Bafunye akabenje; Basatu bafu

Added 20th July 2016

Abaava e south Sudan Bafunye akabenje; Basatu bafu

 Afema mu ddwaaliro e Mulago

Afema mu ddwaaliro e Mulago

Bannay ugan da ababadde baggyibwa e South Sudan bagudde ku kabenje basatu ne bafiirawo abalala 54 ne bafuna ebisago ebyamaanyi.

Brig Kayanja Muhanga yategeezezza nti akabenje kaagudde Jablen munda e South Sudan loole kwe baabadde batambulira bwe yafunye akabenje era munaana ku 54 abaafunye ebisago baabadde mu mbeera mbi ne babatwala mu ddwaaliro e Gulu. Brig Kayanja yagambye nti eggulo bayingizza abantu abaasobye mu 6,000 wabula ng’okuva lwe baatandika okuggyayo abantu, abasoba mu 20,000 be baakatuusa e Uganda.

Asuman Mugyenyi aduumira ebikwekweto mu poliisi yabadde ku nsalo n’ategeezezza Bukedde nti we bwatuukidde mu Mmande nga be baatuusizza ku nsalo ya Uganda ne South Sudan e Elegu bangi tebalina ntambula ebatuusa waabwe kyokka Gavumenti yabadde ekola nteekateeka okubafunira obusobozi obubongerayo.

Yagambye nti waliwo n’abalala okuva mu mawanga; Kenya, Congo, Eritrea, Somalia, Rwanda abaabadde bawera 48 n’abanoonyi boobubudamu abalala 269.

Abakulembeze b’abamawanga ga Afrika bassizza kimu ne basindika amagye g’omukago gwa Afrika 12,000 e South Sudan. Amagye gano gagenda kuva mu mawanga okuli Uganda, Kenya, Ethiopia ne Rwanda.

ABAASIMATTUSE ABALI E MULAGO BALOJJA Nnaalongo Lydia Birungi 40 ne bba Ssaalongo Rugoda ab’e Nabweru balombozze bwe baasimattuse bbomu ennyonyi za Kiir bwe zaawandagazizza bbomu ku kifo we baabadde babeera e Juba. Ebibajjo bya bbomu byasesebbudde Birungi okugulu okulala essasi ne likuyitamu. Birungi abadde akola ne bba nga ye atunda mu dduuka.

Agamba nti bwe yawulidde ekibwatuka kwe kwekukuma wansi mu kitanda gye kyamusanze okumuyuzaayuza. Ababiri babadde bakoleddeyo okumala emyaka ettaano kyokka tebaasigazza mmaali olw’omuliro kyokka n’ebyabadde bisigadde ne binyagibwa ne ssente enkalu ne bazitwala. Basaba buyambi bali ku ssimu 0773778294.

Ate Charles Afema 35, dereeva wa loole Fuso eyabadde atwala kasooli Juba essasi lyamukutte omukono oluvannyuma lw’okugwa mu kulwanagana ate munne bwe baabadde essasi ne limuyita mu kisambi nga yasigadde Lira ng’ajjanjabirwa ye n’ajja e Mulago

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...

Ggoolokipa Lukwago agudde m...

GGOOLOKIPA wa KCCA FC ne Uganda Cranes, Charles Lukwago agudde mu bintu bw’afunye kkampuni egenda okumwambazanga...