TOP

Abattakisi batabuse okubakaluubiriza Pamiti

Added 20th July 2016

Abattakisi batabuse okubakaluubiriza Pamiti

 Baddereeva mu lukuhhana lwabwe.

Baddereeva mu lukuhhana lwabwe.

ABATtakisi balangidde poliisi nti y’esibye obubenje ku nguudo bw’egaanyi okukkiriza nti abavuga mmotoka za buyonjo nga tebamanyidde kuvugira ku nguudo ezitali zimu be basinga okukola ensobi. Baagambye nti poliisi teyagala kuwa baddereeva ba takisi pamiti nga bwe kituuka okuzizza obuggya tekkiriza ate nga be basinga okumanya okuvuga.

Abalala beemulugunyizza nti pamiti zaabwe Gavumenti yazisazaamu olw’okuba baakeerewa okuzizza obuggya ate bwe bagisazaamu tebakuddiza kiraasi gy’obaddeko!

Baasabye Gavumenti eddemu ekyuse mu tteeka kubanga abaserikale beekwasa nnyo amateeka ate nga gaakolebwa dda.

Ssentebe wa takisi mu kiwayi kya UT RADA, Mustafa Mayambala eyategese omusomo yagambye nti etteeka ekkadde abaserikale balyekwasa nnyo. “Nsaba mwanguye okukyusa mu tteeka musseemu obuwaayiro obutangira okuyuza pamiti y’omuntu n’okwanguwa okuzza obuggya pamiti.” Omumyuka w’akulira okukebera mmotoka, Kalim Kibuuka n’akulira ebidduka mu Kampala n’emiriraano, Norman Musinga baakakasizza badereeva nti bagenda kwongera okubategekera emisomo era ebirowoozo byabwe bagenda kubituusaayo.

Kibuuka yagambye nti bagenda kukola ennongoosereza mu tteeka erifuga ebidduka era n’asaba badereeva okugenda bafune pamiti kubanga tekikkirizibwa kuvuga mmotoka ng’omuntu talina bisaanyizo naddala pamiti.

Abantu bye bagamba Afema mu ddwaaliro e Mulago Ttanka ezikubiddwa ku mabbali g’enguudo e South Sudan. Baddereeva mu lukuhhana lwabwe. Nankabirwa deborah nanfuka hannington nkalubo Amawulire

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...