TOP

Poliisi yeenyodde n'aba Boda boda abatalina bisaanyizo

Added 21st July 2016

Poliisi yeenyodde n'aba Boda boda abatalina bisaanyizo

 Abamu ku babadde mu kwekalakaasa nga bakanyugiddwa ku kabangali ya Poliisi

Abamu ku babadde mu kwekalakaasa nga bakanyugiddwa ku kabangali ya Poliisi

POLIISI ekubye amasasi okugumbulula aba boda boda ababadde bakola e fujjo nga bawakanya okukwata piki piki zaabwe ezitalina bisaanyizo .

Poliisi y’ebidduka   akoze ebikwekweto eby'enjawulo mu bitundu bya kampala okukwata boda boda ezitalina bisaanyizo wabula ku Kaleerwe , Kyebando aba boda boda poliisi yawaliziddwa okukuba amasasi mu bbanga okusobola okugumbulula ol'efujjo lye babadde bakola okuli n’okukasuka amayinja mu kkubo.

Aba Boda Boda olwategedde nti poliisi ekwata piki piki zaabwe ne beekolamu omulimu ne batandiika okussa emisanvu  mu ngudo ez'enjawulo mu Kawempe okuli  Gayaza nga n’abamu obwedda bavuga baagala kukoona basirikale ekyawalirizza poliisi okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula ssaako n’okukwata abamu abeetabye mu kwekalakaasa.

Wakati mu kavuvungano wakati wa Poliisi n'Aba Boda mmotoka ya Poliisi ekubiddwa endabirwamu n’eyatika,embeera eno yawalirizza miritale okuyitibwa era n’abasirikale abamu baalabiddwa n’ekibooko.

Musa Mukasa owa Boda Boda ategeezezza nti ekyabaaviriddeko okwekalakaasa ye Poliisi okubawa ekiseera ekitono okusasuliramu ebisaanyizo , agasseeko nti waliwo ne bannaabwe obwedda abakwatibwa naye nga balina ebisaanyizo  kyokka olw'okuba poliisi eyagala ssente obwedda tetaliza .

Atwala poliisi ye Kanyanya Twaheyo anyonnyodde nti  ategeezezza nti  aba Boda Boda abasoba 14 beebaakwatiddwa olw’okukola efujjo  era wadde amasasi gaakubiddwa naye tewali akoseddwa

Wiiki ewedde poliisi yasooka kusomesa ba Boda Boda ng’olukiiko lwatuula ku Nkulungo y’oku Kaleerwe kyokka byonna ebyabasomesezebwa byabaayita ku mutwe.

James Wasike omumyuka w'akulira ebikwekweto ku poliisi ye Kawempe ategeezezza nti waliwo aba boda boda ababadde tebakirizigannya na kikwekweto kye yagambye nti poliisi erina okukola omulimu gwayo kuba  kiyamba  bbo okuba n’ebisanyizo , yagasseko nti abaakwatiddwa bakuyamba ku poliisi okunoonyerezza ekiri emabega w’okulemesa poliisi .  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...