TOP

Awadde ebiragiro ku nkozesa ya sitampu

Added 22nd July 2016

Awadde ebiragiro ku nkozesa ya sitampu

 Meeya ng'ayogera mu lukiiko n'abatuuze

Meeya ng'ayogera mu lukiiko n'abatuuze

MEEYA w’e kawempe awadde ba ssentebe  b’ebyalo ebiragiro  okukomya okukozesa sitampu ezisukka mu emu ku biwandiiko ebitongole  kyagamba nti kyekiviiriddeko obumenyi bw’amateeka  n’agamba nti agenda kukola enteekateeka ezifunira buli kyalo sitampu entongole.

Sserunjoji alaze obwennyamivu olw’okuba ng’obukiiko bwa  LC 1 obusinga tebukyawera olw’abakulembeze okufa oba okusenguka nga n’abamu ku bakulembeze tebakyafaayo kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe eky’ongedde obumenyi bw’amateeka .

Sserunjogi yasinzidde mu lukiiko  mwe yasisinkanidde ba ssentebe b’ebyalo  119  ebisangibwa mu kawempe  okukubaganya ebirowoozo ku kusomoozebwa okuli mu bitundu byabwe n’okutemera awamu empenda z’okubuvuunuka e Mulago ku Lwokuna.

Sserunjogi ategeezezza  mu bbanga ly’amaze mu ofiisi alabye  sitampu ez'enjawulo nga zikola ku kyalo kimu nga wano we yasinzidde n'ategeezza nti bali mu ntekateeka okukola sitampu ya  munisipaali ejja okukozesebwa ku buli zooni nga kino kijja kumalawo sitampu ezibba abantu

Ensonga ya munisipaali okufuna sitampu ey'enjawulo ba ssentebe baakiwagidde nga bagamba nti kituufu waliwo bannaabwe abaaliko ne bagobwa olw'emivuyo egitali gimu nga bano  baakozesa sitampu ezaabwe ez'enjawulo nga bazikozesa okufunamu ssente nga bano be basinze okwongera obumenyi bw’amateeka mu kitundu . .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...