TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwendo gw'abava e South Sudan guleese obukenke mu malwaliro

Omuwendo gw'abava e South Sudan guleese obukenke mu malwaliro

Added 28th July 2016

Omuwendo gw'abava e South Sudan guleese obukenke mu malwaliro

 Omusawo ng’ajjanjaba abamu ku balwadde abeeyiye mu ddwaaliro e Kitebi.

Omusawo ng’ajjanjaba abamu ku balwadde abeeyiye mu ddwaaliro e Kitebi.

Ekitongole kya KCCA n’eky'abanoonyi b’obubudamu ekya Interaid bataddewo abavvuunula mu nnimi ez'enjawulo mu malwaliro ga KCCA basobole okwanguyiza abasawo okukola ku bantu abeeyiwa mu malwaliro gano buli lunaku.

Dayirekita wa KCCA, Jennifer Musisi akakasizza nti amalwaliro ga KCCA kati gaweza ababundabunda abasoba mu 7000 era amalwaliro gazitoowereddwa okubatuusaako obujjanjabi. Muky.

Musisi yabadde afuna ebikozesebwa okwongera amaanyi mu bujjanjabi mu ddwaaliro ly'e Kitebi mu Munisipaali y’e Lubaga okuva mu ba Interaid, Infectious Disease Institute n’ekitongole kya kookolo okuva mu ddwaaliro ly’e Mulago. “Kati amalwaliro gaffe mu Kampala gaweza ababundabunda abasoba mu 7,000, era kireetedde abasawo n'ebikozesebwa okukeewa," Dayirekita Musisi bwe yagambye.

Dr. Dorothy Ajilong, akulira eddwaaliro lya Kitebi Health Center III agamba nti bafuna abadundabunda abasoba mu 70 olunaku, kyokka ebikozesebwa n'abasawo tebyeyongerako. ‘Tufuna ababundabunda okuva e Sudan, Somalia, Congo, Burundi, n'awalala, era ebifo ebisinga okunyigibwa ye wanywebwa eddagala lya siriimu, awazaalisibwa n'awatu-ukirwa abavubuka," Ajilong bwe yategeezezza.

Akulira ekitongole kya Inter aid, Scholastica Nasinyama agamba nti basazeewo okuteeka abantu abannyonnyola abalwadde mu nnimi ez’enjawulo mu malwaliro gano kyanguyize abasawo okubakolako mu bwangu.

Abavvuunuzi baavudde mu nsi ez'enjawulo awadduka ababundabunda era tebasasulwa. Ebimu ku byaweereddwaayo mulimu: Laabu omukebererwa obuwuka obusirikitu, awasomesebwa abasawo, ebitanda ebizaalisibwako, weema awalindirwa abalwadde, ebyuma ebikebera abakyala b’embuto, n’ebirala.

OKUSOOMOOZEBWA

Ng’oggyeeko omujjuzo gw’ababundabunda, abalwadde abaabulijjo nabo gano ge malwaliro ge beeyunira. Ajilong agamba nti, “Tufuna abakyala abazaala abali wakati wa 100 ne150 buli lunaku. Abali ku ddagala lya siriimu bali 300, ate abavubuka bali 150. Abajja okubakebera ne badda ewaabwe bawera 250.

Eddwaaliro lino linyigiriziddwa kuba n’ebikozesebwa nga giraavu, eddagala, empiso, ppamba, n’ebirala tebikyamala.

Ekirala eddwaaliro kati likola emirimu egyalibadde gikolebwa ku ddaala erya Health Center IV, so nga liri ku ddaala lya Health Center III. Kino kikosa ffe ng’abasawo kuba tuzitoowererwa emirimu, ate ne kikosa n’obujjanjabi abalwadde bwe bafuna kuba tukola kitono ku muwendo gw’abantu abatutuukirira”, Ajilong bw’amaliriza.

Eddwaaliro lino lisangibwa mu munisipaali ya Lubaga era liweereza abantu okuva e Kitebi, Sembule, Nyanama, Ndeeba, Kibuye, Nalukolongo, Kabuusu n’awalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.