TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Meeya w'e Nansana akubirizza abantu okwekebeza endwadde nga tezinasajjuka

Meeya w'e Nansana akubirizza abantu okwekebeza endwadde nga tezinasajjuka

Added 30th July 2016

Meeya w'e Nansana akubirizza abantu okwekebeza endwadde nga tezinasajjuka

MEEYA wa munisipaali y’e Nansana Regina Bakitte akunze abakazi okujjumbira okwekebeza kookolo w’omumwa gwa nnabaana n’amabeere kibayambe okufuna obujjanjabi amangu ng’embeera tennaba kusajjuka kubanga bwajjanjabibwa amangu awona.

Bakitte akubirizza abasajja n’abakazi okwekebeza akawuka abaleeta sirimu, sukaali ne puleesa bafune obujjanjabi kubanga abantu abasinga babeera n’obulwadde obw’obutawaana nga tebutegeera bumaze okubakuba ku ndiri ng’abasawo tebakyasobola okujjanjaba ekivudde abantu bangi okufa ne ky’ongera omuwendo gwa bamulekwa abatalina mwasirizi.

Okwogera bino Bakitte abadde aggulawo okukebera endwadde ez’enjawulo n’okujjanjaba okwomuggundu okwobwerere ku kisaawe ky’e Nabweru okwawomeddwamu omutwe ebibiina by’obwannakyewa eby’egattira mu kibiina kya ‘Nansana Civil Society Network’.

Bakitte agambye nti okusumuusibwa kwa Nansana n’afuuka Munisipaali kigenda kunyigiriza abamu ku batuuze kubanga bagenda kuyisa eteeka abantu obutaddamu kuziika mu kitundu kino, obutamala gamansa kasasiro, obutaddamu kuzimba mayumba gatalina pulaani mu kaweefube w’okutuukiriza ebisaanyizo by’ekibuga.

Ssentebe w’akiiko akateeseteese omukolo guno Robert Ssanyu yagambye nti baleese abasawo okuva mu Island ababakwatizaako okukebera n’okujjanjaba endwadde okuli; kookolo wa nnabaana, amabeere, akawuka akaleeta sirimu, sukaali, puleesa n’obulwadde obulala ku bwerere.

Ssanyu yagambye nti ng’ogyeko obujjanjabi, bayolesezza aby’emikono ebirukibwa ebibiina by’abakazi eby’enjawulo abakazi abalala bafunireko eky’okuyiga batandikewo emirimu egibasobozesa okweyimirizaawo mu kifo ky’okulowooleza mu ssente z’akammeeza baami baabwe ze babalekera okukozesa awaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abaserikale musse ekitiibwa...

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda...

Omusomesa ng'akebera omuyizi corona virus.

Minisitule y'ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka mu birina okusomesebwa abayizi ba P7 abazzeeyo ku masomero n’ab’ebibiina...

Zzimula n'embuzi ze.

EMBUZI GYE BAMPA MU MUSOMO ...

ZZIMULA , mutuuze w’e Busega Kibumbiro zooni B mu munisipaali y'e Lubaga mu Kampala. Muluunzi wa mbuzi era yazizimbira...

Aikoru n'abaana baabadde atulugunya.

Abadde asuza abaana mu kaab...

OMUKAZI Juliet Aikoru ow’e Kazo Angola akwatiddwa ng’abadde amaze ebbanga ng’atulugunya abaana ba muggyawe be yalekera...