TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akatale ka Ssoya kagaziye wadde omusana gwokezza emisiri

Akatale ka Ssoya kagaziye wadde omusana gwokezza emisiri

Added 1st August 2016

Akatale ka Ssoya kagaziye wadde omusana gwokezza emisiri

 Abalimi ba ssoya e Kiboga nga bayiga engeri gy’alimibwa.

Abalimi ba ssoya e Kiboga nga bayiga engeri gy’alimibwa.

ABALIMI mu ggombolola y’e Muwanga mu disitulikiti y’e Kiboga babanguddwa engeri ey’omulembe gye bayinza okulimamu ssoya kibasobozese okwongera ku bungi bwe bakungula n’ennyingiza.

Omusomo gwabadde ku nnimiro y’omulimi Vincent Njabire esangibwa e Muwanga. Abalimi abasoba mu 40 be beetabye mu musomo guno nga beegattira mu kibiina kya Muwanga Growers & Environmental Conservation Assocition ekikulemberwa Jude Kayiira. Omusomo guno gwategekeddwa kkampuni ya Ugachick.

John Kizito yasomesezza abalimi nti, ssoya afuna wabula ekikulu be balimi okugoberera amateeka ge nga bamulima olwo lwe bajja okumufunamu.

Yagambye nti, abalimi ssinga ebyo baba babikoze bulungi, mu yiika ya ssoya mw’osimbye kkiro 25, osobola okukungulamu waakiri kkiro 1,500 nga ne bw’oba atunze ku 1000/- osobola okufuna akakadde akamu n’ekitundu mu sizoni z’agamba nti zino ssente ezitakyasoboka mulimi kufuna ng’asimbye kasooli oba ebijanjaalo mu yiika emu. Ssoya akulira emyezi ena, mu mwaka alina sizoni bbiri.

Francis Katongole Kiberu, omulimisa mu ggombolola y’e Muwanga, yakubirizza abantu okukomya okusimba ebirime wansi w’emiti, okutabiikiriza n’emmwaanyi ate bateeka mu nkola ebyo bye baba babasomesezza.

Jude Kayiira, Ssentebe w’ekibiina kino yagambye nti, ku mulundi guno abalimi abanaasangibwa nga tebasimbye ssoya mu layini bajja kugobwa mu kibiina n’obutaddamu kufuna nsigo za ssoya, kubanga bwe batakikola ssoya tebamusimba ku mumalawo omu ne bamusiika oba okumwonoona.

Vincent Njabire, omulimi wa ssoya yategeezeza nti yasimba yiika ssatu wabula yali asuubira kufunamu kinene naye omusana gwamukwata nga tajja kufunamu nga bwe yali asuubira. Yagambye nti, ssoya kirime ekiguminkiriza omusana ate nga tekyetaaga kigimusa kya maanyi

. Edward Sserinnya, omukwanaganya wa pulojekiti eno mu Kiboga ate nga naye mulimi yakakasizza abalimi nti akatale ka ssoya weekali era tewajja kubaawo mulimi ajja kudibirirwa ssoya. Yakubirizza abalimi okuteekateeka ennimiro zaabwe mu budde basobole okusimbirawo ng’enkuba yaakatandika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...