
Wabaddewo katemba ku poliisi e Masaka Nnyazaala bw'aleese mukoddomiwe asibibwe ng'amulumiriza okugenda n’obutwa mu makaage yettireyo.
Joseph Lubega 33 ng'ono mutuuze ku kyalo Kirumba mu munisipaali y'e Masaka yagenze n’obutwa ewa nnyazaalawe n'agezaako okwettirayo ng'entabwe evudde ku mukaziwe Mariam Nazziwa gw'amaze naye emyaka 12 okunoba n'addayo ewa nnyina Rehema Namugerwa.
Namugerwa agamba nti gye buvuddeko Lubega ne Nazziwa baafuna obutakkaanya mu maka gaabwe ekyaviirako Nazziwa okukwatamu ebibye n'addayo awaka.
Annyonnyodde nti nga wayiseewo ekiseera Lubega yagenda mu maka ga nnyazaalawe ne yeegayirira era n'asuubiza okukola kyonna ekyetaagisa okulaba nga Nazziwa amuddiramu.
Ono ategeezezza nti mukwegayirira ennyo Nazziwa yalagira bba Lubega asooke awe nnyina akakadde k’ensimbi nga akasiimo nti kubanga okuva lwe baafumbiriganwa Lubega yali talina kye yali awadde nnyina.
‘’Oluvannyuma bakkiriziganya era Nazziwa n'ategeeza nti bajja okuddayo ewa Lubega bw'anaaba amaze okutuukiriza ekisuubizo kye bakkiriziganyaako,” Namugerwa bwe yannyonnyodde
Wabula kigambibwa nti Lubega yakedde n'agenda mu maka ga Nnyazaalawe n'amutegeeza nga bw'ayagala boogeremu ku nsonga ze baali bateseganyizzaako, ekintu Namugerwa kye yakkiriziganyiza nakyo era n'amwaniriza wabula kyamubuseeko bwe yalabye ng'ate aggyayo akacupa mu nsawo yeewe obutwa.
Mu kuggyayo akacupa Lubega yakasaanukudde anywe wabula Namugerwa bwe yakeetegerezza nga ka butwa n'akamusikako n'amubuuza ensonga emuwaliriza okwetta kwe kumutegeeza nga ssente ze baamusalira okumuwa bw'atalina wa kuziggya.
“Lubega yazze ewange n'ang'amba nga bw'alina ensonga zaayagala twogereko kyokka kyankubye wala okulaba ng'ate aggyayo obutwa yettire mu maaso gange nga ndaba,” Namugerwa bwe yagasseeko mu nnaku eyekitalo!
Oluvannyuma Namugerwa yawazeewaze Lubega n'amutwala ku poliisi ng'ayagala amunnyonnyole ensonga lwaki yabadde ayagala okwettira mu makage.
Wabula Lubega yegaanyi ebimwogerwako n'ategeeza nga ye bw'atannalinnya mu maka ga nnyazaalawe n'agamba nti baayawukana dda ne Nazziwa.
Ye atwala poliisi y'e Masaka, Moses Kakiryo yategeezezza nga Lubega bw'agguddwako omusango gw’okugezaako okwettira mu maka agatali gage.