TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ababbi basattiza ab'oku Container Village

Ababbi basattiza ab'oku Container Village

Added 22nd August 2016

Ababbi basattiza ab’oku Container Village

 Ab’oku Container Village nga bali mu lukiiko.

Ab’oku Container Village nga bali mu lukiiko.

ABASUUBUZI b’engatto enkadde ku Container Village batabukidde bannannyini bizimbe kwe bakolera olw’ababbi abamenya ne babba emigugu gyaabwe. Bino byabadde mu lukiiko olwayitiddwa Ssentebe waabwe wiiki ewedde, Ssaalongo Peter Kigozi nga batema empenda okulwanyisa obubbi buno.

Wabula abagagga bannannyini bizimbe tebaalabiseeko ne basindika bamaneja okubakiikirira, ekyaggye abasuubuzi mu mbeera. Kigozi yagambye nti abagagga obuteetaba mu lukiiko lwaabwe kwabadde kubayisaamu maaso so nga babayita bababuulire ebibaluma.

Abasuubuzi baagambye nti waliwo ekibinja ky’ababbi ekimenya kkufulu ku sitoowa zaabwe ne babba emigugu gy’engatto mu matumbibudde. Wabula baakitadde ku bannannyini bizimbe bino obutafaayo kubiteekako bukuumi bumala. Bino bye byasaliddwaawo:

obukuumi bwongerwe ku bizimbe, buli akolerako okubeera ne densite, ebizimbe biggalwe ku Ssande ate biggalwengawo essaawa 12:00, biggulwewo 12:00 ku makya ate buli musituzi aweebwe ettaawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...