TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Empaka z'aboobubina teziraga bugunjufu - Ntagali

Empaka z'aboobubina teziraga bugunjufu - Ntagali

Added 12th March 2019

Ssaabalabirizi Stanley Ntagali avumiridde empaka z'aboobubina n'agamba nti si za bugunjufu.

 Ntagali ng'ayogera ku matikkira ga yunivaasite y'e Mukono eya UCU.

Ntagali ng'ayogera ku matikkira ga yunivaasite y'e Mukono eya UCU.

Bya       Paddy Nsobya              

 

SSAABALABIRIZI w'Ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali atikkidde abayizi 397 abamalirizza emisomo mu Yunivaasite y'Obukulisitaayo e Mukono UCU, n'ayongera okuwakanya enteekateeka y'empaka z'obubina "Miss Curvy" egenda mu maaso n'ategeeza nti teziraga mpisa na bugunjufu era zityoboola abakyala abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.

 

Bino yabyogeredde Mukono ku Lwokutaano bwe yabadde ku matikkira g'ettendekero lino ag'e 19. Yagambye nti empaka zino zinaabuula empisa ez'obugunjufu eggwanga kwe lisaanye okwesigama ne yeebaza abavuddeyo okuzivumirira.

 

Ye amyuka Cansala wa yunivaasite eno, Rev. Can. Dr. John Ssenyonyi yasabye abayivu abaamalirizza emisomo obutanyooma mirimu gya ssente entono n'abategeeza nti bw'oba olinnya eddaala otandikira wansi n'ogenda waggulu. "Ne mu by'emirimu otandika na kitono n'ogenda ng'olinnya amadaala."

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...