TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ttiyaggaasi n'amasasi binyoose nga Abtex ne Bajjo banoonyeza Nyakato akalulu

Ttiyaggaasi n'amasasi binyoose nga Abtex ne Bajjo banoonyeza Nyakato akalulu

Added 19th September 2019

Abbey Musinguzi owa Abtex promotions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events enjiri y’okununula abasibe abali ku misango emitonotono bagitutte Hoima. Enteekateeka eno bagitongolezza mu lukung’aana lwa bannamawulire mu kibuga Hoima nga bali wamu ne Muky. Asinansi Nyakato Kamanda avuganya ku ky’omubaka omukazi ow’e Hoima.

 Nyakato Kamanda ng'ava ku kabangali ya poliisi

Nyakato Kamanda ng'ava ku kabangali ya poliisi

Bya Ponsiano Nsimbi

Abbey Musinguzi owa Abtex promotions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events enjiri y'okununula abasibe abali ku misango emitonotono bagitutte Hoima. Enteekateeka eno bagitongolezza mu lukung'aana lwa bannamawulire mu kibuga Hoima nga bali wamu ne Muky. Asinansi Nyakato Kamanda avuganya ku ky'omubaka omukazi ow'e Hoima.

 bbey usinguzi bitex nabalala nga bawakanya poliisi okukwata yakato e oima Abbey Musinguzi (Abitex) n'abalala nga bawakanya poliisi okukwata Nyakato e Hoima

 

Bano oluvannyuma baatalaaze ekibuga kyonna nga bawerekerwako abawagizi baabwe okwolekera ofiisi ya RDC, Alali Kisembo okumubuuza lwaki yaweze omuntu waabwe okwogerera ku mikutu gya leediyo mu kitundu kino.

 tiya gaasi eyakubiddwa poliisi okugumbulula abantu okuziyiza abakola effujjo Ttiya gaasi eyakubiddwa poliisi okugumbulula abantu okuziyiza abakola effujjo

 

Bano poliisi teyabaganyizza kuyitawo n'ekyaddiridde kuwaanyisiganya bigambo. Abawagizi bano nga bali ne Abtex, Bajjo ne Nyakato baalemeddeko ekyawalirizza poliisi okubakubamu amasasi ne ttiyaggaasi ne babuna emiwabo.

 yakato ku bodaboda Nyakato ku bodaboda

 

Nyakato yakubye poliisi ekimmooni n'abuukira bodaboda era yasibidde mu ofiisi ya RDC.

RDC teyabadde mu ofiisi era amagye ne poliisi byayiiriddwa mu kifo kino okutangira abakola effujjo n'okukakkanya embeera. Oluvannyuma DPC Katumba, Diso Benon Tumusiime, Jackson Wabyona akulira ttiimu ya Nyakato n'abamu ku bawagizi baabwe beevumbye akafubo Diso n'avumirira obuyinza RDC bwe yakozesezza era n'abakkiriza okudda ku leediyo. Eno olwavudde ewa RDC yayaniriziddwa nga muzira ne bakuba n'engoma nga bwe babinuka amasejjere.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...