TOP

Tetuli bamativu ku kusima amafuta

Added 1st November 2019

Ebibiina by'obwannakyewa byennyamivu olw'enteekateeka y'okusima amafuta eyakolebwa obubi

 Nakajubi Carolyn mu pink wakati ye Onismas mugyenyi ate kudyo ye James Muhindo owa Acode

Nakajubi Carolyn mu pink wakati ye Onismas mugyenyi ate kudyo ye James Muhindo owa Acode

Bya Peace Navvuga
Ebibiina by'obwannakyewa byennyamidde ku kusima amafuta okubindabinda nga balumiriza gavumenti okukozesa kkampuni ezitalina layisinsi. Bino bibadde ku kitebe kyabwe e Kamwokya ekimu ku byalo ebikola Kampala.
 
Ebibiina by'obwannakyewa nga bikulembeddwaamu James Muhindo okuva mu kibiina kya Acode (Advocate Coalition for Development) basabye Gavumenti ku by'okusasula abantu ku mafuta agagenda okusimibwa essaawa yonna.
aome amara owa Naome Namara owa NEMA

 

 
Gye buvuddeko Gavumenti esomesezza abantu engeri gye bagenda okufuna mu mafuta nga muno mwe muli okusasula abantu abali mu bitundu omugenda okuyita emidumu omugenda okuyita amafuta gano, nga wano ebibiina we bisinzidde ne bitegeeza nga Gavumenti bwetekoze kusomesa bantu kimala.
 
Bagamba nti, gavumenti ebalirira abantu n'ebyabwe kyokka ne batwala ebbanga okubasasula, ng'ate ne bwe basasula babawa ensimbi nga basinziira ku bbanga lye babaliriramu so ng'ate ettaka lirinnya ebbeeyi. 
 
Ekitongole ekivunaanyizibwa okuwa kkampuni olukusa okubalirira abantu n'ebyabwe ekya NEMA kisambazze ebyogeddwa nga bagamba nti, ab'ekitongole ekyakola okubalirira kuno ekya RSK kyakakasibwa era kirina olukusa ng'omwogezi w'ekitongole kino Naomi Namara Karekaho agamba nti, gavumenti tesobola kukozesa kkampuni eterina lukusa.
 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spoon X Lounge bataddewo amaduuka

Corona anyize ab'ebbaala ne...

Eyo y'embeera ekirwadde kya corona we kituusizza bannannyini bifo ebisanyukirwamu naddala ebbaala. Oluvannyuma...

Omukazi yabuuka n'eyavaako ...

ABAKAZI abasinga tebalina bugumiikiriza! Maama w’abaana bange bwe bansiba mu kkomera e Luzira nagenda okuvaayo...

Pogba owa ManU (ku kkono) ne Zaha owa Palace baddamu leero okusisinkana.

ManU tetidde Crystal Palace

LEERO (lwamukaaga) zaakudda okunywa batabani ba Ole Gunnar Solskjaer (aba ManU) bwe banaaba balwana okukakasa ensi...

Bashir Mutanda

Mbarara etutte Bashir Mutanda

MBARARA City FC eraze amaanyi bw’esitukidde mu abadde omuteebi wa SC Villa, Bashir Mutanda n’assa omukono ku ndagaano...

Kizza (ku ddyo) ng’akwasa Mayeku omujoozi gwa URA.

Tukooye ennyonta y'ebikopo ...

SSENTEBE wa URA FC, James Kizza agambye nti ennyonta y’ebikopo ebasusseeko nga sizoni eno baagala basitukire mu...