TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kamyufu afumise munne ebiso lwakumugaana kuyisa wire mu nnyumba ye

Kamyufu afumise munne ebiso lwakumugaana kuyisa wire mu nnyumba ye

Added 7th July 2020

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’.

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n'agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba'.

Bano, basoose kulwanagana ku Mmande kumakya omutuuze eyategerekeseeko erya Patrick lyokka ng'abalala baamukazaako lya Paatu  bwe yalumbye mutuuze munne Emmanuel Golola abadde akolera mu katale k'e Kansanga.

Nnamwandu Sarah Nassiwa yagambye nti, Paatu yagenze mu maka gaabwe ku ssaawa nga ssatu ez'okumakya n'asitula olutalo ku Golola n'agezaako (Golola) enfunda ssatu okulumba Paatu amukube wabula mukazi we n'amugaana okulwana.

Yagasseeko nti, yamuyingizza mu nnyumba wabula ye (Nassiwa) otulo ne tumubba. Mu kiseera kino, Paatu yabadde akyali wabweru w'ennyumba Golola n'afuluma.

Ku kyalo Maasaana e Kansanga Golola gy'abadde abeera, babadde bamumanyi ng'omusajja kanyama atawakula ntalo. Bwe yafulumye ennyumba, Rehama Nalubega yagambye nti, yakubye Paatu ekigwo enfunda bbiri Paatu n'amugamba nti, ‘musajja munnange onsinze' n'atambula n'agenda.

Grace Auma yagambye nti, yabadde atudde ne banne Paatu n'abayitako nga yewera nti, ‘ebyange tebinaggwa' ne bamubuuza biki ebyabadde tebinaggwa n'abagamba nti, ‘mulinde mugenda kulaba ekiddako'.

Auma yagasseeko nti, wayiseewo eddakiika ntono ne bawulira emiranga ng'abantu bagamba nti, amufumise ebiso.

Paatu olwamaze okufumita Golola ebiso bisatu ku nsingo ne mu kifuba, yatambudde nga yewaana nga bwamumaze nga bw'akomawo okukebera ku Golola gwe yabadde afumise ebiso ng'agudde wansi obiwundu bifuuwa musaayi omuyitirivu.

Nalubega yagambye nti, oluvannyuma yeetutte ewa ssentebe w'ekyalo n'afukamira wansi n'asaba bamusonyiwe. Paatu babadde bamumanyi nga 'kamyufu' abbirira amasannyalaze ku kyalo era Nalubega agamba nti, obuzibu bw'ava ku waya Paatu ze yayisa mu nnyumba ya Golola bwe yamugamba okuziggyamu n'amuggulako olutalo.

Owen Abigaba ayasitudde Golola yagambye nti, ssaawa zaabadde ziyingira emu ey'ekiro ng'abatuuze bonna batya okukwata ku Golola. Yagambye nti, baamusitudde ne bamutwala ku kalwaliro k'oku kyalo ne babagoba ne babalagira bagende e Nsambya.

"Twanoonyezza entambula n'ebula n'enkubira poliisi eyatuwadde kabangali n'omusibe ateeberezebwa okutta Golola ne bamutwala." Abigaba bwe yagambye.

Kyokka, poliisi erumiriza nti, bwe yagenzeeyo okuggyayo omusibe n'omulambo, abatuuze baakubye abaserikale ba poliisi era baamaze kusindika baserikale balala ne bataasa bannabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...